• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Obwakabaka butongozza Yinsuwa y’ebyobulamu, Owek. Kaawaase asabye abantu okugyettanira bagonze obulamu

Gambuuze by Gambuuze
December 5, 2023
in Amawulire, Eby'Obulamu
0 0
0
Obwakabaka butongozza Yinsuwa y’ebyobulamu, Owek. Kaawaase asabye abantu okugyettanira bagonze obulamu
0
SHARES
77
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Bulange – Mmengo

Obwakabaka bwa Buganda butongozza Yinsuwa y’ebyobulamu etuumiddwa “Munno mukabi” ng’omu ku kaweefube w’okutumbula eby’obulamu mu bantu ba  Ssaabasajja Kabaka.

Enteekateeka eno etongozeddwa Omumyuka Asooka owa Katikkiro era Minisita avunanyizibwa ku nzirukanya y’emirimu ne Tekinologiya mu Bwakabaka, Owek. Twaha Kawaase Kigongo ku Lwokusatu.

Bwabadde atongoza enkola eno, Owek. Kaawaase asabye abantu okugyettanira obulamu bubanguyire kuba esobola okubayamba mu kaseera akazibu nebasobola okufuna obujjanjabi.

Owek. Kawaase ajjukiza abantu nti ensangi zino eby’obulamu bikalubye kale nga kiba kyetaagisa omuntu okubaako newaddukira mu biseera ebizibu naddala mu biseera by’obulwadde kubanga bujja nga tebusuubiddwa.

Ono agamba nti emirundi mingi abantu balwala nebesanga nga tebalina wadde eddagala era nga wano Beene weyasinzidde nasiima abantu be babateerawo engeri ennyangu mwebasobola okuyita nebafuna obujjanjabi.

Ono akoowodde aba boodabooda n’abavuzi b’ebidduka okubeera abasaale mu kwewandiisa mu yinsuwa eno babeere ku mirimu nga bagumu nti webafunira akabenje konna eky’obujjanjabi kyanguwa.

Okusinziira ku Owek. Kawaase, okunoonyereza kulaga nti  buli ddakiika wabeerawo akabenje ka booda booda ate nga abasinga babufuna nga tebalina wadde webatandikira mu kwejjanjaba.

Ono abakubidde omulaga nti ssente baziteeke ku bulamu bwabwe okusinga lwebanaazimalira mu bintu ebizitwala nga zzaala ate nebejjusa.

Mu Yinsuwa eno, omuntu wakusasulanga ensimbi za Uganda emitwalo 36,000 zokka buli mwaka okufuna obujjanajabi bweyetaaga.

Mu ngeri yeemu, wabaddewo okutongoza ne Yinsuwa eyakwatizaako abafiiriddwa nebayita mu kaseera akazibu nga tefunye kukaluubirizibwa era asabye abantu nayo bagyettanire.

Ate Omumyuka Owokubiri owa Katikkiro era omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa atenderezza enkola za Yinsuwa ezitongozeddwa era n’asaba abantu bonna okuzeyuna kubanga teziboola muntu yenna.

Yinsuwa zino zikoleddwa ng’Obwakabaka bukolagana ne kampuni ya Yinsuwa eya Liberty Life Insurance Company eyatta omukago ne Kampuni y’Obwakabaka eya Werinde Insurance Brokers.

Owek. Kawaase asuubizza aba Liberty Life Insurance Company nti Obwakabaka bujja kutambula nabo mu nkolagana eno kubanga eggyayo ekigendererwa kya Beene eky’okusitula mbeera z’abantu be.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist