
Bya Ssemakula John
Bukalasa – Bulemeezi
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga atabukidde abavubuka abazze mu kulera engalo n’okusabiriza nebalemwa okwekolera nga bwebaviiridde okukonziba kwenkulaakulana mu gwanga.
Okutuuka ku bino Katikkiro Mayiga abadde mu Bulemeezi ku ttendekero lya Bukalasa Agricultural College e Bulemeezi.Obuganda bwebubadde bukung’aanye okwetaba mukujaguza olunaku lw’ Abavubuka wamu n’ olunaku lwa kawuka akaleeta Mukenenya ku Lwokutaano.
Katikkiro Mayiga agamba ensangi zino abavubuka balinda nnyo ebibisuubize mu kifo ky’okubaako byebayiiya okusobola okweyimirizaawo basobole nookusitula Buganda.
Wano abasabye okumalirira babeeko byebatandika olwo nebebaagala okubakwasizaako webanaatandikira kubanga tewali ajja kufuna maanyi gabayamba nga tebali kyebatandiseeko.
Owek. Mayiga asinzidde wano najjukiza abantu ba Kabaka nga bweyakwasa abavubuka omulembe ggwe era naategeeza nti kino kyali kitegeeza okunywerera ku nsonga semasonga ettaano nga bwazirambuludde okusobola okuzza Buganda ku ntikko.
Ono asabye abavubuka okufaayo ku myaka gyonna egyobuvubuka naye nga ekyo kirina kutuukibwako nga balamu bwatyo naabasaba okwekuuma akawuka akaleeta mukenenya.
Minisita w’Abavubuka n’Ebitone mu Bwakabaka, Owek. Sserwanga annyonnyodde nti mu lusiisira lw’amateeka lwebategese bakizudde nti bannakigwanyizi bangi abeesomye okubba ettaka ly’ abantu wano Buganda omuli nelya Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka.

Owek. Sserwanga abaana abato abasabye okwewala okwetaba mu bikolwa ebyekikulu kubanga ebirungi mu maaso era asabye abavubuka okufaayo ennyo okwekebeza akawuka akaleeta mukenenya.
Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu mu Buganda, Owek Joseph Kawuki ategeezezza nti bakyagenda mu maaso n’okwekeneenya nkola y’emirimu mu Buganda eruubirirwamu kusitula embeera z’abantu mu Bwakabaka bwatyo nasaba abantu okugiwagira.
Omwami w’essaza Bulemeezi, Kkaangaawo Ronald Mulondo agambye nti embeera ya kawuka akaleeta mukenenya ekyali nzibu eruuyi eno kubanga omuwendo gwabakalina guli wagulu nnyo kwekusaba bannabulemeezi okwongeramu amaanyi mu kukalwanyisa.
Ye Ssentebe w’ Abavubuka mu Buganda, Omuk. Baker Ssejjengo yeebazizza Kabaka olw’okwagala ennyo abavubuka naabateerawo n’omulamwa omukulu ennyo ogw’okwekuuma mukenenya olw’okuzimba Buganda kyagambye nti bagenda kugukwasa maanyi olw’okutaasa eggwanga.

Akulira abavubuka mu ssaza Bulemeezi, Yosam Ntege asinzidde wano naategeeza nga obutabanguko mu maka naddala mu bavubuka bwebuvuddeko okusasaana kwa kawuka akaleeta mukenenya nga kino kyetaaga okweng’anga mu bwangu olw’okutaasa embeera.
Ssentebe w’ enteekateeka z’okukuza olunaku luno, Owek. Andrew Mulwana Kizito ategeezezza nti mukujaguza olunaku luno bingi bikoleddwa mu Buganda naddala okutaasa abantu ba kabaka mu byobulamu bwatyo naasaba abantu ba Beene obutaddirira ku nsonga z’obulamu bwabwe kuba Nnyinimu abaagala balamu.
Ku mukolo guno kubaddeko nookutongoza ennambika yaabavubuka mu bwakabaka” olwokutumbula embera yaabavubuka abomulembe omutebi eyomwaka 2020 era minisita wa Bavubuka ebyemizanyo nookutumbula ebitone Owek. Robert Sserwanga Ssaalongo annyonyodde lwaki kino kikoleddwa leero ate nga ennambika eno yatandika dda okukola.









