
Bya Shafic Miiro ne Francis Ndugwa
Lungujja – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga atendereza emirimu amakula egikoleddwa owek. Joyce Lovincer Mpanga omuli okwagala obwakabaka bwe, n’okulwanirira eddembe ly’abakyala n’emirembe mu ggwanga.
Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuweeredde Lungujja mu maka g’omugenzi Owek. Joyce Mpanga ku Lwokusatu naasaasira ab’enju eno olw’eddibu lyebafunye.
“Katonda tumwebaza naye Omuganda agamba nti akendo wekawoomesezza amazzi wekaabikira. Kyannaku naye awangudde bingi, asaana ajjukirwe ng’omukulembeze ate ng’omulwanirizi w’eddembe ly’ abakyala, ” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.
Mukuumaddamula Mayiga agambye nti omugenzi abadde mukiise wa Lukiiko omujjumbize era wadde abadde atambulira mu kagaali naye buli lutuula abadde afuba nabeerawo ekintu ekitatera kusangika. Ono akakasizza ng’Omugenzi bw’abadde ayagala ennyo Obwakabaka era amuwabula ku nsonga ez’enjawulo bwezirina okutambula.
Owek. Mayiga agamba nti obulamu bw’Owek. Mpanga bulaga nti ensi tesaana kwawula mu kikula ky’abaana si nsonga bawala oba balenzi naye bwebalabibwamu ebitone bisaana bikuzibwe.

Ono agasseeko nti obulamu bw’omugenzi bulaga nti abafumbo balina okuyambirigana nga Omwami w’omugenzi bweyakola.
Katikkiro agamba nti owek. Joyce Mpanga abadde mugatta era alwaniridenyo edembe ly’abantu nadala abakyala elyali lityoboolwa ennyo. Kamalabyonna Mayiga asabye abakyala abali mu bifo by’obukulembeze mu Ggwanga okugoberera omukululo gw’owekitibwa Joyce Mpanga bwebaba baagala okujukirwa.
Ono annyonnyodde nti Owek Mpanga y’omu ku bayitimusizza emikisa gy’abakazi ng’akikoze awatali bwannalukalala.
Ye muwala w’omugenzi Lydia Zawedde Nabitalo yeebaziza Nnyabwe olw’okubateekateeka obulungi nti kyakubayambako okutambula munsi eno n’okutwala omukululo ggwe mu maaso.
Kinajjukirwa nti Owek. Joyce Mpanga yali ku lusegere lwa Ssekabaka Edward Muteesa II, era ne Kabaka Mutebi II yamuwa Ekitiibwa ky’Amafumu n’Engabo era afudde Mukiise wa Lukiiko omujjumbize.
Owek. Joyce Rovincer Mpanga wakuziibwa olunaku olwenkya e Maya ku biggya bya bakadde be.









