
Bya Francis Ndugwa
Kibuli – Kyaddondo
Omulangira Dr. Kassim Nakibinge Kakungulu akyazizza omubaka wa Pakistan mu Uganda Ambasada Muhammad Hassan Wazir nebawayamu ku nsonga ezenjawulo ezigatta amawanga gombi naddala ezikwata ku ddiini y’obuyisiramu n’enkulaakulana.
Omulangira Nakibinge ategeezezza Ambasada Hassan Wazir nga Uganda bweri ensi y’abalimi kyokka ng’ ebintu bingi bitundibwa butereevu mu butale nga byakava mu nnimiro ewatali kusooka kugatibwako mutindo ekiviiriddeko okuddirira mu by’enkulaakulana.
“Tusiima nnyo byebasobodde okuteeka mu Uganda nga University ya Equator esangibwa e Masaka eya Sayansi ne Tekinologiya nga bataddemu ssente nnyingi naye tubasaba bongere okuteekawo naddala amakolero agajja okuyamba bannayuganda naddala abavubuka,” Omulangira Kakungulu bw’annyonnyodde.
Ono agamba nti Pakistan ebadde nsaale mukuwa bannayuganda bbasale nebagenda okubanguka awamu n’ebyobusuubuzi nga bangi abaggyayo ebintu kati naddala eddagala.
omubaka wa Pakistan mu Uganda, Amb. Muhammad Hassan Wazir nga abadde awerekedwako omumyukawe Mohsin Biral yeebaziza Mbuga olw’okubaniriza namutegeza nga Pakistan bwejja okusigala nga ekolagana bulungi ne Uganda naddala mu nteekateeka z’ebyobusuubuzi kuba akatale mu Uganda weekali.
Amb. Muhammad Wazir agamba nti olw’okuba bannayuganda bamirembe era abaaniriza abantu, wakwogereza bamusigansimbi okuva e Pakistan basige ensimbi zabwe mu Uganda kiyambeko okulanyisa ebula ly’emirimu mu banansi.
Pakistani mu kiseera kino be banannyini University ya Equator University of Science and Technology okuva e Lahore Pakastan era nga baliko abayizi bangi abasoma eby’obulamu ku Sikaala e Pakistan songa ne Basheikh bangi dalala abasomye kuno nga basomera ku Sikaala eziva e Pakistan.









