
Bya Ssemakula John
Rusororo – Rwanda
Omuzaana era maama w’Omulangira Crispin Jjunju, Amb. Venetia Sebudandi aziikiddwa Olwaleero ku Lwomukaaga ku biggya bya bajjajja b’e Rusororo mu Rwanda.
Obwakabaka bwa Buganda businzidde ku mukolo gw’okusabira omugenzi awamu n’okumuwerekera nebumutendereza olw’ obwetowaze n’obuntu bulamu nga abadde awuliriza buli muntu yenna amutuukirira.
Omukolo gw’okusabira omugenzi gwetabiddwako abeebitiibwa okuva mu mawanga agenjawulo nga muno mwemubadde ne mukyala wa Pulezidenti wa Rwanda, Jeannette Kagame.
Wano wasooseewo omukolo gw’ okusabira omugenzi okubadde Kkanisa ya St. Peters esangibwa mu kibuga Kigali nga kuno kwetabiddwako Nnaalinya Lubuga Agnes Nabaloga, Omulangira David Kintu Wasajja, n’Abaana b’eng’oma okuva mu Ankole awamu ne bannaddiini n’emikwano gy’Omulangira Jjunju.

Kulwa balangira n’ abambejja , Nnaalinya Lubuga Agnes wamu n’Omulangira David Kintu Wasajja , bategeezezza nti Nyinimu yeyabanjulira Omuzaana Venetia Sebudandi era okuva lwe baamumanya yafuukira ddala maama gyebali nga olwomukwano gweyabalaga kko nokuzzangamu amaanyi kumpi mubuli kimu.
Bw’abadde abuulira Omulabirizi Nathan Amooti nga yatwala Obulabirizi bwa Kigali, yeebazizza katonda olwobulamu bw’Omuzaana Venetia bwatyo era nasaasira nnyo Obwakabaka olw’okuviirwako omuntu owamaanyi.
Kinajjukirwa nti Omuzaana Sebudandi yali mpagi luwaga mukibiina Kya Rwandan Patriotic Front (RPF) era kino kisiimye ettoffaali omugenzi lyagasse kukibiina ebbanga lyamaze nga aweereza mu buvunaanyizibwa obw’enjawulo.
Kulwa baganda b’Omulangira Jjunju abava e Rwanda, Edgar Rusagara agamba olw’obumalirivu omuzaana abadde muzadde alaga omukwano abaana bonna era akoze buli kimu okubagatta n’okubabeererawo mungeri ezenjawulo.
Ye Omulangira Chrispine Junju Kiweewa yebazizza bonna abamubeereddewo mumbeera eno eyokusomooza era neyebaza katonda olwebyo byasobodde okukozesa Maama we nga akyali mulamu.

Obubaka bwa Katikkiro bwetikiddwa Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa era wano Obwakabaka bumutendereza olw’ obwetowaze Omuzaana bwabadde nabwo nga newankubadde abadde nebitiibwa ebiwerako naye abadde muntu wabantu era awuliriza buli muntu.
Owek. Nsibirwa agattako nti bingi ebyokuyigira ku muzaana naasaba abantu okumulabirako.
Oluvannyuma Omuzaana aterekeddwa e Rusororo wakati mubitiibwa era abakungubazi bangi abakuwerekeddeko nebamutendereza olw’omukululo gwalese.









