• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Owek. Nsibirwa asabye abantu okweyambisa akatale akali mu Buganda bakulaakulane

Gambuuze by Gambuuze
November 15, 2023
in Amawulire
0 0
0
Owek. Nsibirwa asabye abantu okweyambisa akatale akali mu Buganda bakulaakulane
0
SHARES
78
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Shafic Miiro ne Francis Ndugwa

Mmengo – Kyaddondo

Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa asabye abantu okubaako ne byebatunda mu katale mu ngeri y’obuweereza oba ebyamaguzi mu katale akali mu Buganda bwebaba baagala okwegobako obwavu.

Omuwanika Waggwa agamba nti ebitundu 70 ku buli 100 ku byenfuna by’eggwanga byonna bitambulira wano mu Buganda nga abantu basaanye okwerwanako basalire ebibasomooza amagezi olwo bakulaakulane.

Bino Owek. Waggwa Nsibirwa abyogeredde Mmengo ku Kenlon Hotel ku mukolo aba Kyaddondo CBS PEWOSA SACCO kwebatongoleza enkola ya ‘Kabbo ka Muwala” (E- Invest) ku Lwokusatu.

Owek. Nsibirwa asinzidde wano naasaba abantu okuyiga n’okwemanyiiza enkola za tekinologiya kubanga ensi kati kwetambulira.

Ono yeebaziza abantu olw’okujjumbira ebibiina by’Obweggasi, n’abasaba okwagazisa abalala n’abo okufuna ku miganyulo egiri mu SACCO zino okusobola okutwala Buganda mu maaso.

Owek. Nsibirwa agamba nti Obwakabaka bwakusigala nga bulondoola ebibiina by’obweggasi byonna bye bulinako akakakwate okulaba nti bitambulira mu bwerufu.

Ye Omwami wa Kabaka akulembera essaza Kyaddondo, Kaggo Hajj. Ahmed Matovu Magandaazi, yeebaziza abantu olw’okujjumbira okusiga ensimbi kubanga bulijjo omuntu tasobola kubaako kyakungula okuggyako ng’asize.

Owek. Magandaazi asabye abantu bulijjo okumalirira mu byebakola era beeyunge ku nkola ya tekinologiya kubanga teyeewalika, bwatyo nasiima abakulembera SACCO eno olw’enteekateeka eno.

Ssentebe wa SACCO eno, Omuk. Michael Kawooya Mwebe, asuubizza ba mmemba nti enkola eno egenda kubayambako okwanguyirwa okufuna empeereza zaabwe, ate n’okusitula omutindo, bwatyo n’asaba ba mmemba okugyettanira n’okujagazisa abalala.

Kitegeerekese nti abantu ba Beene basobola okuganyulwa mu nteekateeka eno nga banyiga *284*44# okwongera okutereka, okusiga ensimbi, okwewola ate n’okukola amagoba.

 Omukolo guno gwetabiddwako olukiiko olukumbulera SACCO, abakulembeze ku Bboodi, ne ba mmemba abawerera ddala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist