
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye Omuhikirwa wa Bunyoro, Andrew Byakutaaga n’ekibinja kye nebateesa ku ngeri gyebasobola okutumbulamu enkolagana y’Obwakabaka n’Obukama era naakakasa nti bingi ebigatta ebitundu bino byombi nga n’olwekyo kyamakulu okukolaganira awamu.
Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu era wano Owek. Mayiga wasabidde ebitundu bino byombi okutambulira awamu okusobola okugonjoola ebizibu n’okugasa abantu baabyo.
“Kaakati tulina bingi ebifaanana, obwetaavu obuliwo bwebumu, byabulamu, byanjigiriza, okulwanyisa obwavu, terri kituweebula mu Afirika nga bwavu. Omuntu atalina mmere waka, mazzi mayonjo oba wasula tayinza kutegeera byafaayo bya Bunyoro Kitara tasobola nakatono abeera weeyirimba neku Buganda kyekimu. N’olwekyo nze ndowooza bwetukolaganira awamu netuzinogera eddala kijja kuyamba nnyo abantu baffe okulaakulana,” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde.
Owek. Mayiga agamba nti Bunyoro ne Buganda bafaananya ebintu bingi okusinga ebyo ebibaawula nga n’olwekyo balina okutambulira awamu bweba baagala okukyuusa embeera z’abantu babwe.

Ono annyonnyodde nti entalo za Buganda ne Bunyoro tezaali zamawanga nga abamu bwebagamba naye zino zaali za byanfuna nga amayinja omuva ebyuma, ente, omunnyo, n’abakyala awamu n’abavubuka okukola emirimu n’okulwana mu ntalo.
Omuhikirwa wa Bunyoro Andrew Byakutaaga, yeebazizza Katikkiro Mayiga n’Obwakabaka olw’okubaaniriza obulungi era n’okukuuma ekitiibwa kya Buganda era neyeeyama okwongera okunyweza obumu.
Byakutaaga ategeezezza nti waliwo obwetaavu bwokukolera awamu beerabire ebyo ebyali bibaawula kuba ebizibu byebasanga byebimu era akkiriza nti ku by’obugagga ebiri mu Afirika n’emikisa gyaayo basobola bulungi okulwanyisa obwavu.

Ono annyonnyodde nti olw’okuba baalemwa okwegatta mu biseera ebiyise kyawa abazungu omwagaanya okubawamba era wadde eggwanga buli mwaka lijaguza obwetwaze naye ebizibu bikyali bingi naye tebagenda kubiyimba okuggyako okubifunira eddagala.
Omuhiikirwa Byakutaaga agamba nti balina obuvunaanyizibwa okuyambako gavumenti okutumbula embeera z’abantu n’okubakulaakulanya.









