
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye Ssaabalabirizi w’Ekkanisa y’Abadiventi omuggya, Pr. Dr. Moses Maka Ndimukika, wamu n’abakulembeze b’ekkanisa y’Abaadiventi ab’enjawulo nebawayamu ku nsonga ezitali zimu n’okumuyozaayoza ku myaka 10 gyamaze ne Ddamula.
Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu era Kamalabyonna Mayiga asinzidde wano naawera okunyweza obumu ku bantu ba Kabaka awatali kusosola langi wadde eddiini.
“Okutuukiriza obumu nina okukola obwenkanya ate okutuukiriza obwenkanya nina okukola ekituufu ate okukola ekituufu nina okulondoola amazima. Awo nno tufuba ne bannange bano okunyweza obumu mu bantu ba Kabaka mu bwenkanya nga tukola ekituufu n’okulondoola amazima,” Kamalabyonna Mayiga bw’ategeezezza.
Owek. Mayiga annyonnyodde nti abantu ba Buganda bafaananako n’ekibatu kuba tewali afaanana mulala naye nga walina okubaawo obwenkanya mu bonna Buganda esobole okutambula n’abantu baayo abali mu mabala gabwe ag’enjawulo.
Ono yeebazizza obukulembeze bw’abaadiventi olw’omulimu gwe bakola mu byenjigiriza n’ebyobulamu, abantu bangi nnyo abayise mu masomero gaabwe, agatasomesa baana kuyita bigezo kyokka wabula n’okubasigamu empisa y’obuntubulamu ekitangaazizza ebiseera by’eggwanga eby’omu maaso.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, amasinzizo gasaanye ganyweze ensonga z’Obuwangwa naddala obutaliiko ndoliito naddala ebika, kuba ebyawandiikibwa biraga nti Yesu teyajja kuddibya wabula okutereeza nga kino kijja kuyamba ensi okwongera okutereera mu by’omubiri, eby’ensi n’ebyomwoyo.

Bano Kamalabyonna Mayiga abeebazizza olw’ebirabo byebamuwadde awamu nettu ly’obukadde 10 lyebawaddeyo eri eggwanika lya Buganda okusobola okutwala emirimu gya gavumenti ya Beene mu maaso.
Ye Ssaabalabirizi w’Abadiventi Pr. Dr. Moses Maka Ndimukika yeebazizza Katikkiro Mayiga olw’obutabasosola wadde nga si bangi mu ggwanga naye nabateeka ku mwanjo mu nsonga z’Obwakabaka.
Dr. Maka Ndimukika agamba nti wadde embeera y’ebyenfuna si nnungi mu ggwanga naye Katikkiro Charles Peter Mayiga agezezaako okutetenkanya naleeta enteekateeka ez’enjawulo ng’Ettofaali erivuddemu ebibala.
Ensisinkano eno yeetabiddwako Sipiika wa Buganda, Patrick Luwaga Mugumbule, Minisita w’Amawulire Israel Kazibwe Kitooke, Minisita w’ensonga za woofiisi za Katikkiro, Noah Kiyimba ne Minisita Cotlida Nakate n’abasumba ab’enjawulo n’Abalabirizi b’ekitundu kya Buganda mu kkanisa eno.









