
Bya Ssemakula John
Kampala
Minisita wa gavumenti ez’ebitundu n’entambula za Kabaka, Owek. Joseph Kawuki akalaatidde abayizi okwewala abantu abayinza okubalimbalimba nebabayingiza mu bikolwa eby’okukoppa ebigezo mu bibuuzo bino ebibindabinda kuba bayinza okubonoonera ebiseera eby’omu maaso.
Owek. Kawuki bino ebyogeredde ku ssomero lya MUMSA High School e Mityana ku mukolo gw’okusabira abayizi ba Siniya ey’okuna abagenda okutuula ebigezo byabwe eby’akamalirizo mu mwezi guno.
Bano abakubirizza okwekkiririzaamu n’okwewaayo ate nga bwebateeka mu nkola abasomesa byebabawadde okubasabira kuleme kuba ng’okubadde kuyisa bivvulu.

Mu ngeri yeemu Owek. Kawuki yekokkodde omuze gw’okwagala eby’amangu kyagambye nti kyekiviiriddeko abantu okukoppa ebigezo nga baagala okufuna byebatakoleredde.
Wano wasinzidde naasaba ekitongole ky’ebigezo obutakoma ku kusazaamu ebigezo by’amasomero agakwatiddwa nga genyigira mu kukoppa ebigezo, wabula wabeewo n’okugakangavvula nga agamba nti emize nga gino kisaana okukolwako eggwanga bweriba lyagala okufuna abantu abalina ensa.
Omukolo guno gutandise nakusaba okukulembeddwamu Rev Fr. Bonney Kakinda era ono akubirizza abayizi okufuba okusoma ebiri mu bitabo olwo essaala ebayambe okubitegeera kubanga tebasobola kubitegeera nga tebasomye. Ono era akubirizza abayizi okusoma ennyo yonna babeere banjawulo mu nsi.
Omukolo guno gwetabiddwako abantu ab’ebitiibwa abaasomerako mu MUMSA High School era bano bategeezezza abayizi nti nabo basobola okufuuka abantu ab’obuvunaanyizibwa mu eggwanga singa baba beewaddeyo.









