
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu Owek. Joseph Kawuki akunze Obuganda bwonna okwennyigira mu nteekateeka z’Olunaku lwa Bulungibwansi ne Gavumenti eyawakati mu Buganda era beeyiwe ku Our lady of Consolanta Bweyogerere ewagenda okubeera emikolo emikulu.
Okukunga kuno, Minisita Kawuki akukoledde ku mbuga enkulu e Bulange e Mmengo ku Lwokuna bw’abadde ayanjula ayanjulira Obuganda enteekateeka z’olunaku luno.
Owek. Kawuki ategeezezza nti Obwakabaka buli mu kaweefube wakunnyikiza enkola ya Bulungibwansi mu miti emito nga abayita mu masomero abaana bakule nga bamanyi obuvunaanyizibwa bwabwe.
Okusinziira ku Minisita Kawuki, ku mulundi guno emikolo gya Bulungi bwansi gyakutambulira ku mulamwa ogugamba nti, ‘Tunyweze enkola ya Bulungibwansi nóbukulembeze obulung’amu okukuuma Nnamulondo.’
Mungeri yeemu Owek. Kawuki era alambuludde ku nteekateeka enegobererwa mu kujaguza emikolo gya Bulungibwansi nga batandise ne ssabiiti ekulembera olunaku luno nga muno basimbiddemu emiti, okwera amakubo, okugogola enzizi n’okulongoosa ebitundu ebyenjawulo mu masaza gonna.

Owek. Kawuki annyonyodde nti baagala abantu bamanye nti baliko ebintu byebasobola okukola awatali kuweebwa mpeera naye kulw’ obulungi bw’ebitundu byabwe n’obulamu bwabwe.
Okusinziira ku Minisita Kawuki mu nteekateeka ya Ssabiiti eno mwabaddemu ‘Akaalo Amatendo’ ng’eno yayindidde Najjanankumbi era nga bategese n’omusomo omunene okubangula abantu ku Butonde bw’ensi ne Bulungibwansi.
Ono agamba nti mu kiseera nga Buganda tefuna musolo eno y’engeri yokka esobola okutambuza emirimu n’okukuuma abantu ba Kabaka nga balamu bulungi.
Kawuki asabye abantu b’Omutanda bonna okujjumbira omukolo guno era nga gujja kutandika ne Bulungibwansi mu kabuga k’e Bweyogerere n’oluvannyuma beeyune ekifo awagenda okuyindira omukolo.
Omukolo guno gwetabiddwako Minisita w’ensonga z’ Amawulire n’okukunga abantu ba Kabaka, Owek. Israel Kazibwe, abakungu n’abantu abalala bangi.









