
Bya Francis Ndugwa
Kiboga – Ssingo
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga ez’enjawulo mu Wofiisi ya Katikkiro, Olukiiko, Abagenyi Owek. Noah Kiyimba asabye abavubuka okwettanira obufumbo kiyambeko okubeera n’eggwanga ery’enkya eririmu omulamwa.
Okusaba kuno Minisita Kiyimba akukoledde Katuugo e Kiboga mu Ssingo ku wiikendi bw’abadde yeetabye ku mukolo gw’omuweereza mu kitongole ki Buganda Land Board, Ndyona Tendo Elizabeth era muwala w’ Omukungu Moses Luutu kwayanjulidde mwana munne Tusuubira Solomon Nvule.
Owek. Kiyimba agamba nti ensangi zino abavubuka beewala obufumbo naye ng’ekizibu kiri ku bazadde abaava ku nkuza y’omwana eyali essa essira ku nnono n’obuwangwa obubateekateeka obulungi.
Ono alaze nti ekiseera kituuse abazadde okulambika abaana babwe ku nnono entuufu kubanga bano bebayimiridde Buganda ne Uganda ey’enkya.

Kiyimba era asabye abantu bonna mu Buganda okudibya emize egikolebwa mu kwanjula egityoboola ennono z’Obwakabaka okukuuma ekitiibwa kya Buganda.
Ye Omwami wa Kabaka atwala essaza Ssingo, Mukwenda David Nantajja asabye abantu okunyweza obuwangwa n’ennono naddala ezeekuusa ku maka olwo lwegajja okusobola okunywera.
Amyuka Ssenkulu wa Buganda Land Board, Kizito Bashir ajjukiza abantu okunyweza obusenze bwabwe ku ttaka n’okufaayo okulikuuma kubanga gwegumu ku misingi gya Buganda egisobola okugikuuma kulw’ emirembe egijja .
Kitaawe w’Omugole era Katikkiro w’Ebyalo bya Kabaka, Omuk.Moses Luutu awadde abazadde amagezi okugunjula abaana mu mpisa lwebanasobola okutuuka ku kkula nga lino.
Omukolo guno gwetabiddwako abantu abenjawulo , Abaami ba Ssaabasajja ab’Amasaza, baminisita mu Buganda , abakungu mu bakwakabaka, abakulembeze mu Gavumenti eyawakati , n’abaweereza mu Bwakabaka ku mitendera egy’enjawulo.









