
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Minisita w’Amawulire Okukunga abantu era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek.Israel Kazibwe akubiiriza Bannamawulire bulijjo okufuba okukola omulimu gwabwe n’obukugu era batambuze amalungi ago gokka amatuufu
Okwogera bino Owek. Kazibwe abadde asisinkanye bannamawulire abasaka agafa e Mmengo okuva mu bitongole eby’enjawulo okulaba bwebasobola okunyweza enkolagana yabwe ne Minisitule ku Lwokubiri mu Bulange e Mmengo.
Minisita Kazibwe mu bubaka bwe akubiriza bannamawulire nga batuukiriza obutume bwabwe okwesigama ku mazima bawe abantu amawulire amatuufu so si majjweteke agasobola okuleeta obuzibu n’okutattana abalala.
Owek. Kazibwe era abawadde amagezi okufuba okwetonderawo SACCO mwebasobola okujja ensimbi beekulaakulanye n’okutumbula embeera zabwe nga banyweza obumu.
Ye Minisita w’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Obulambuzi n’Ebyokwerinda, Owek. Anthony Wamala bannamawulire abasabye okuba nempisa nga baweereza kiyambe okuweesa omulimu gwabwe ekitiibwa.
Akulira eby’okwerinda bya Kabaka, Capt. Christopher Lutwama ategeezeza nti bakwongera okunyweza enkolagana wakati wabwe ne bannamawulire okulaba nga buli omu atuukiriza obuvunannyizibwa bwe mu mirembe.
Bino bijjidde mu kiseera nga Obwakabaka bwatandiseewo essengejjero lya Buganda li Buganda Media Centre okwongera okwanguya omulimu gwokutuusa ku bantu amawulire agafa embuga mu butuufu bwago.









