
Bya Ssemakula John
Bulange Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye gavumenti eyawakati okussaawo omutemwa ogwetengeredde ku nteekateeka y’okumaliriza awamu n’okulabirira Amasiro g’e Kasubi buli mwaka okusobola okugakuumira ku mutindo.
Okusaba kuno Mukuumaddamula Mayiga akukoledde mu Lukiiko olutudde mu kisenge ky’Olukiiko ku Mmande ng’ Obwakabaka buyisa embalirira y’omwaka 2023/ 2024 wansi w’omulamwa ogugamba nti,’Teri Kubongoota’.
Wano wasinzidde najjukiza abakulira ekitongole ekiddukanya ekibuga Kampala, okuyisa ekiteeso kyókufuula Amasiro gé Kasubi akabonero ka Kampala okwongera okugamanyisa abantu nókugatunda munsi yonna olw’enjawulo gyegalina.
Owek. Mayiga asoose kulambululira Lukiiko enteekateeka ezaayitiddwamu okulaba ngámasiro ge Kasubi ekitongole kya UNESCO kigaggya ku bifo ebyenkizo ebiri mu katyabaga. Owek. Mayiga annyonnyodde nti Amasiro gaakasaasaanyizibwako obuwumbi bwa Silingi obusoba mu 10.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, Uganda yakawaayo obuwumbi bwa shs 2, eya Japan obuwumbi 2, eya Norway obukadde buli mu 300 saako ne World Heritage Fund eyawaayo obukadde nayo buli mu 300 ng’ensimbi ezisinga obungi ziweereddwawo bantu ba Buganda n’eggwanika.

“Amasiro bwegaalangirirwa mu Riyadh nti gagyiddwa mu lukalala lwébifo ebyenkizo ebiri mu katyabaga, abakiise bonna baatusanyukirako nnyo. Era mu lukiiko lwonna Obwakabaka bwa Buganda ne Uganda byebyasiinga okuvuga ennyo, kubanga gano amasiro ga nsi yonna. Awo wensabira gavumenti eteeke omutemwa gwénsimbi mbalirira yéggwanga ezókulabirira amasiro,” Katikkiro Mayiga
Katikkiro agambye nti wakyaliwo enteekateeka nnyingi ezikoleddwa okutuusa amasiro ge Kasubi ku mutindo ogwetaagisa oguweesa Obwakabaka ekitiibwa ne Uganda okutwalira awamu, saako okusikiriza abalambuzi okuva mu nsi yonna.
Mu nteekateeka zino mulimu okusaawo amakubo omunavaanga ebintu ebirabirira amasiro omuli essubi, obukeedo, nébirala, okuyoyoota oluggya lwámasiro nga mussibwamu amayinja agafaanannaira ddala Ssekabaka Mutesa I geyalekawo, okuyooyoota ennyumba zonna ezisaangibwa mu masiro, okulabirira obulungi abazaana abagalabirira, okuzimbamu kabuyonjo ez’omulembe nébintu ebirala bingi.

Mu lukiiko lwe lumu Katikkiro alambuludde ku bugenyi bwa Nnaabagereka Sylivia Nagginda mu maka ga president e Ntebbe, gyeyasisinkanidde President Yoweri Kaguta Museven okumunnyonyola ku nteekateeka gyebalina ey’okutongoza enkola yóbuntu Bulamu mu Buganda nébitundu bya Uganda ebirala.
Katikkiro agambye nti Nnaabagereka yawerekeddwako minister wébyóbulamu, ebyenjigiriza ne wofiisi ya Nnabagereka Owek. Cotilda Nakate nábakungu okuva mu kitongole kya Nnaabagereka Development Foundation ne United Nations Development Program (UNDP) abawomye omutwe mu nteekateeka eno.
Mu ngeri eyenjawulo Katikkiro alabudde ku busiwuufu bwémpisa obutandise okweyolekera mu mpaka zémipiira gyámasaza ga Buganda, násaba minister wémizannyo, abavubuka, ebitone Owek. Robert Sserwanga nábaami b’amasaza okusalira ekizibu kino amagezi.









