
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga alangiridde Bulemeezi ng’essaza erisinze amalala gonna mu nteekateeka y’entambuza y’emirimu okusobola okutuusa empeereza egwanidde ku bantu ba Kabaka.
Ekirangiriro kino Katikkiro akikoledde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bw’abadde asisinkanye Abaami b’Amasaza ab’enjawulo.
” Akulembedde ye Bulemeezi n’obubonero 75, njozaayoza nnyo abawangudde naddala ali mukisooka, eky’okubiri n’ekyokusatu ndowooza n’ekyokuna olw’ekyo kyemutuuseeko wabula njagala omuntu awangudde addemu okutwala obuwanguzi,” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.
Owek. Mayiga ategeezezza nti Abaami balina omulimu munene nnyo okuzimba Buganda era kino kyebalina okulekera abaana n’abazzukulu nabasaba okumanya obuvunaanyizibwa bwabwe era baleme okubongoota ku mulembe guno Omutebi.

Ono asabye Abaami b’ Amasaza abatasobodde kubeera na ggombolola zikoze bulungi okwekebera bamanye ekikyabalemesezza okukola obulungi mu nteekateeka eno.
Owek. Mayiga yeebazizza amasaza agakoze obulungi era nabasaba okutwala mu maaso empeereza zino era bafube okukola ekituufu olwo Buganda esobole okudda ku ntikko.
Ye Minisita w’ Obwakabaka owa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki annyonnyodde nti omulimu guno gwakolebwa ebibinja by’abakugu bitaano biramba era nyeebaza Obwakabaka olw’enteekateeka Nnamutayiika ebayambye okubalambika obulungi.
Owek. Kawuki yeebazizza olukiiko olwasala empaka zino olukulirwa Omw. Male Busuulwa, amyukibwa Ssali Damascus nga luliko bammemba okuli Aloysious Kyeyune Kitikyamuwogo, Hajji Juma Bbosa Mayanja, Owek. Christine Nabukenya, Omw. Shaban Jjingo, Hajji BB Katongole, Muky. Sarah Mugwanya, Omw. Mukwaya, Omuky. Nakanjako Annet, Alice Lubega, Kasirye Denis ne Mw. Ssematiko Adam.
Okusinziira ku Minisita Kawuki empaka zino bazisaze nga basinziira ku bino wammanga; Entambuza y’obukulembeze n’emirimu, obujjumbize eri Nnamulondo, obwerufu, Ekitiibwa ky’Embuga, ebikwata ku makakalabizo, ebyenfuna by’essaza, obuyiiya ne Tekinologiya, entambuza y’Amawulire, obukulembeze obubukala mu ssaza, Bulungibwansi n’okwekeneenya emirimu awamu n’ensonga endala.
Amasaza nga bwegaakoze
Essaza erikutte ekifo kye kkumi n’abasatu abadde Buvuma n’obubonero 42.2 ate kkumi n’ababiri nabeera Kyaggwe n’obubonero 45.74 n’obutundutundu ate Kabula naddako n’obubonero 46.3.
Butambala ekutte kifo kya mwenda n’obubonero 51.2, Busiro akutte kya munaana n’obubonero 53.9 ate Kkooki abadde mu kifo kyamusanvu nga alina obubonero 55.2 ate Buweekula nakwata eky’omukaaga n’obubonero 58.69. Bugerere emalidde mukifo kya kutaano n’obubonero 59.
Essaza lya Kyaddondo likutte kifo kyakuna n’obubonero 65.6, Mawokota akutte kyakusatu n’obubonero 67.3 ate Buddu nekwata kyakubiri n’obubonero 71.6 olwo Bulemeezi nawangula n’obubonero 75.
Eggombolola ya Kawuga mu Kyaggwe yeesinze mu Magombolola gonna mu Buganda.









