• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Buganda yakukolagana nabuli muntu awagira Federo – Minisita Kiyimba

Gambuuze by Gambuuze
September 12, 2023
in Agafa e Mengo
0 0
0
Buganda yakukolagana nabuli muntu awagira Federo – Minisita Kiyimba
0
SHARES
46
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Bulange – Mmengo

Obwakabaka buweze okukolagana nokutambula nabuli yenna akkiririza nokuwagira enfuga eya Federo Buganda gyeyaayanira okusobola okuleetawo enkulaakulana n’obwenkanya mu byenfuna n’obukulembeze.

Kino kibikuddwa Minisita  w’ensonga z’Olukiiko era minisita mu woofiisi ya Katikkiro, Owek. Noah Kiyimba mu Bulange e Mmengo bw’abadde asisinkanye bannabyabufuzi ab’enjawulo abakkiririza mu Federo nga bakuliddwamu eyavuganyaako ku bwapulezidenti mu 2016, Omw. Elton John’s Mabiriizi.

Owek. Kiyimba agambye  nti emikono gy’Obwakabaka myanjulukufu eri munnabyabufuzi, omukulembeze oba omuntu yenna ayagaliza era awagira ebirowoozo by’Obwakabaka ku nfuga ekika kino.

Minisita  Kiyimba ategeezezza  nti Buganda erina omugabo munene nnyo mu Uganda nga eggwanga okugenda mu maaso erina okusibwa ku mwanjo kuba okutebenkera kwa Buganda kwekwa Uganda.

Owek. Kiyimba agamba nti Buganda eyagala nnyo okugabana obuyinza mu kukkaanya okusobola okumalawo embeera y’obutali bwenkanya eriwo mu by’obukulembeze n’ebyenfuna n’engabana y’ebyobugagga  by’eggwanga mu kiseera kino.

Ono era annyonnyodde nti waliwo obwetaavu okutuula ku mmeeza okusobola okugonjoola ebizibu ebiri mu ggwanga obuli eby’obulamu ebibi, ebyenjigiriza kuba ensimbi nnyingi ezibbibwa nezitakola byezirina kukola bwewaba wakubaawo Uganda eyeeyagaza buli muntu.

Eyavuganyako ku bwapulezidenti, Elton John’s Mbiriizi   ategeezezza nti baagala Obwakabaka okukulemberamu kaweefube wokulaba ng’Eggwanga lidda ku nfuga eya Federo okumalawo emiteeru egiri mu by’Obufuzi byéggwanga.

Mabiriiizi era akwasizza minisita akatabo akatuumiddwa “Munnansi (The Citzen)akalambika akawonvu ku by’obufuzi by’eggwanga ate nebisuubirwa okukolebwa okubitereeza.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist