
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Minisita w’Olukiiko, Kkabineeti, Abagenyi n’Ensonga ez’enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro, Owek. Noah Kiyimba asabye abantu ba Buganda okunywerera ku Ssaabasajja Kabaka mu mbeera yonna.
Okusaba bwati, Owek. Noah Kiyimba abadde atikkula Oluwalo lwa bukadde obusobye mu 56 okuva mu Bassese ne Bannamawokota ku Lwokubiri mu bimuli bya Bulange kulwa Katikkiro.
Minisita Noah Kiyimba abakuutidde okunywerera ku Kabaka, beewale abababuzaabuza, okubaggya ku mulamwa.

Owek. Kiyimba yeebazizza Abaami ba Kabaka olw’okukunga obulungi abantu ku nteekateeka z’Obwakabaka, ne baleeta oluwalo buli kadde okuwagira emirimu gy’Embuga.
Ono abasabye okwekuuma nga balamu, balwanyise endwadde, naddala mukenenya okumugobera ddala mu Uganda omwaka 2030, we gunaatuukira nga Beene bweyalagira.
Owek. Kiyimba abakuutidde okunyweza kaweefube wa Mmwanyi Terimba, basomese abaana bateeketeeke eggye lya Kabaka ery’enkya, so ng’Abasese abakubirizza okukuuma obutondebwensi, nga beewala envuba embi.

Ye Minisita wa gavumenti z’Ebitundu, oweek. Joseph Kawuki akuutidde abantu okussa mu nkola Ssaabasajja Kabaka bw’alagira, omuli n’okwetegerezza obuweereza bw’abaami be okulaba nga babutuukiriza bulungi.
Mawokota ereese Oluwalo lwa bukadde 42,054,400/=, ate Abasese baleese obukadde 16,834,000/=.









