Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asomoozezza ekitongole kya Buganda Land Board okunoonya nokufeffetta nokuzuula ebiwandiiko ku ttaka lyonna eririna akakwate ku bwakabaka bwa Buganda.
Bino Katikkiro Mayiga abyogeredde mukutongoza bboodi empya ey’ekitongole kya Buganda eky’ebyettaka ki Buganda Land Board omukolo ogubadde ku Bulange Mengo ku Lwokubiri.
Kino kiddiridde Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II okusiima naalonda olukiiko lw’ abantu 10 okutuula ku bboodi eno mu nkyukakyuka zeyakola gyebuvuddeko.
Abasabye okukuuma obulungi ebiwandiiko by’ebifo eby’ennono, bamanye n’ettaka ly’obwami: Katikkiro; Nnaalinnya Lubuga; Obuwanika; Obulamuzi; Amasaza n’amagombolola, ssaako n’okunoonya mayiro ekenda (9000), okunyweza Obuganda.
Katikkiro yebazizza nnyo bboodi enkadde olw’emirimu emingi gyekoze mu kukulaakulanya Obuganda era naasaba olukiiko oluggya okukozesa omusingi oguzimbiddwa bboodi enkadde okwongera okugatta ku Buganda.
Owek. Mayiga bano abasabye okunoonya, okuffeffetta nokumanya ettaka lyonna erya Buganda gyeriri babeere nebiwandiiko byalyo era batandise ku nteekateeka y’okulaba nti lidda.
Ye Minisita w’ettaka nebizimbe mu Buganda Owek. Daudi Fredrick Kisitu Mpanga akozeseza omukisa guno okweyanza empologoma olwokugonomolwako ekifo nasaba bboodi eno efube okukozesa obwerufu mu mpeereza yaayo eri abantu ba Kabaka.
Owek. Mpanga agambye nti waakuyamba abantu okunyweza obusenze bwabwe ku ttaka lya Kabaka, olwo balikolereko eby’enkulaakulana ng’obulimi n’obulungi.
Yeeyamye okukola ne bboodi empya okulaba nga batumbula embeera z’abantu n’okubatuusaako obuweereza obulungi.
Ssentebe awummudde, Oweek. Martin Sseremba Kasekende, yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’obuwagizi mu buweereza bw’abaddemu, n’asaba Bboodi empya okussa ensonga z’abakozi ku mwanjo.
Ate ye Ssentebe Omuggya Omuk. Francis Kamulegeya yeyamye obutatiirira mpologoma ya Buganda mu mpeereza yaabwe nolukiiko lwagenda okukulembera.
Bboodi eno eriko Omuk. Henry Robert Kiggundu ng’omumyuka wa Ssentebe ate bammemba kuliko Mariam Nansubuga, Hajjati Nayiga Sseguya, Owek. Ritah Namyalo Waggwa, Omuk. Paul Kavuma, Omutaka Namugera Kakeeto Nicholas Kasekende, Alex Nyombi, Ayub Kasujja, Omuk. JohnBaptist Kitenda, wamu n’Omuk. Simon Kabogoza.