
Bya Ssemakula John
Buddo – Busiro
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye emirimu egikoleddwa Owek. Hajji Mustafa Mutyaba mukuweereza Obwakabaka n’okubwagazisa abalala.
Bino bibadde mu bubaka bwe bw’atisse Katikkiro mu kuziika omugenzi olw’eggulo lw’ Olwokuna, e Nakasozi Buddo, mu Busiro.
Nnyinimu agamba nti Obuganda bufiiriddwa omuntu alese omukululo ogwamaanyi mu byenjigiriza, amawulire n’okufulumya obutabo era ng’omugenzi Obwakabaka bumumanyidde ebbanga ddene.

Omutanda ategeezezza nti Obwakabaka bwebwali bwakaddawo, Hajji Mustafa Mutyaba yakola emirimu mingi mu Minisitule y’Amawulire, Olulimi Oluganda n’Ebitabo era yeeyakulemberamu omulimu gw’okutandikawo Leediyo ya CBS.
Beene agasseeko nti mukiseera Owek. Mutyaba kyeyamala mu Minisitule y’Obuwangwa yafuba okuwandiika Ebyafaayo n’Ennono za Buganda era yenyigiramu butereevu okulambika Abataka b’Obusolya ku ngeri gyebalina okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.
Kabaka Mutebi ayogedde ku mugenzi nga omuntu abadde omwetowaze awa buli muntu ekitiibwa neyebaza abaana n’abo abamujjanjabwe naddala mu kiseera nga mukyala we amuvuddeko.









