
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga awadde Abaami ba Kabaka amagezi okukozesa emikisa gyonna egijja mu maaso gaabwe okusobola okwekulaakulanya abantu ba Beene.
Okusaba kuno Katikkiro Mayiga akutadde mu bubaka bwatisse omumyuka w’ Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Ahmed Lwasa ku Lwokubiri bw’abadde atikkula Oluwalo okuva mu Bannabusiro.
Kamalabyonna Mayiga agamba nti Abaami balina okulaga ekifaananyi ekirungi eri abantu bebaweereza basobole okwettanira enteekateeka za Buganda.
Bano era abasabye okukozesa obulungi ettaka eriri mu mikono gyabwe lisobole okuganyula abantu b’Omutanda basobole okulwanyisa ekibbattaka .
Owek. Ahmed Lwasa akozeseza omukisa guno naakubiriza Abaami bano okwongera amaanyi mukukunga amasomero kisobozese abaana okuva obuto nga bamanyi kyekitegeeza okukiika embuga bwatyo nasaba nabazadde okusomesa abaana babwe.

Ye Minisita wa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki asabye abakulembeze okuzimba obukulembeze obubeerera ensonga zireme kutambulira ku bbo bokka singa tebabeera mu woofiisi kisobozese okutambuza obulungi emirimu gyembuga.
Bbo abakiise embuga baweze okusigala nga bawulize eri Nnamulondo era nebeebaza Omutanda olw’okubaleetera enteekateeka ezibakulaakulanya.
Abaami beggombolola bakozeseza omukisa guno okulaga enteekateeka zebalina wakati mukwagala okutwala Buganda mumaaso.
Eggombolola ezikiise embuga kuliko Namayumba Mutuba III, Mutuba IV Lunnyo n’eggombolola ya Mutuba I Masuuliita nga bano baleese oluwalo lwa bukadde kkumi n’emitwalo nkaaga mu gumu (10.61M).
Mu ggombolola zino eya Mutuba I Masuuliita yenywedde mu ndala akendo mu kuleeta Oluwalo olwaleero nga baleese obukadde obusobye mu butaano.









