
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Minisita wa Bulungibwansi, Obutondebwensi , Amazzi n’Ekikula ky’Abantu, Owek.Mariam Nkalubo Mayanja akubirizza abantu okulaakulanya ettaka lyabwe era balikolereko emirimu okusobola okulikuuma.
Obubaka buno bubaweereddwa Owek. Mariam Nkalubo Mayanja bwabadde atikkula Bannagomba Oluwalo lwa bukadde 34 n’okusobyo mu bimuli bya Bulange ku Lwokubiri.
Owek. Mayanja agamba nti singa abantu baddayo ku nnono gyebalina okukwatamu ettaka nebeyanjula ewa Nnannyini ttaka ekizibu ky’okugobaganya abantu ku ttaka kyandikendedde.
Owek. Mayanja abasabye bulijjo okufuna ebiwandiiko ebituufu ebikwata ku ttaka bakomye okwekwasa bassentebe b’ebyalo nti babamanyi kubanga bano tebakola makulu singa oli abeera talina mukono gwa nnanyini ttaka.
Owek. Mayanja abeebazizza olw’okujjumbira enteekateeka y’Oluwalo kubanga lukulu nnyo kubanga lweluyamba okuddukanya emirimu gy’Obwakabaka kubanga Buganda tesasulwa musolo.
Ono asabye abantu okusimba emiti bakuume Obutonde bwensi era bakomye okusanyaawo emiti nga baagala okufuna ssente ez’amangu.

Eggombolola ezikiise embuga kuliko; Mumyuka Mpenja , Ssaabaddu Maddu , Ssaabagabo Kabulasoke , Ssaabawaali Kyegonza nendala era enteekateeka eno evuddemu ensimbi obukadde 34 n’emitwalo kkumi n’esatu n’ekitundu.
Ye Minisita wa gavumenti ez’Ebitundu Owek. Joseph Kawuki abasabye okugondera ebiragiro bya Ssaabasajja byawa nga babissa mu nkola Buganda eyongere okutinta.
Bbo Abaami b’eggombolola ezikiise Embuga beebaziza Ssaabasajja olw’obuweereza obulungi eri abantu be nga bayita mu kutumbula ebyenjigiriza , ebyobulamu , obulimi nebiralala.
Mu bakiise mbuga mubaddemu Abaami b’ Emiruka , Abatongole , abaana ba masomero , abaweereza mu Bwakabaka ku mitendera egy’enjawulo n’abakulembeze mu gavumenti eyawakati.









