
Bya Ssemakula John
Kampala – Kyaddondo
Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, alondeddwa nga Ssentebe wa Bboodi y’ekitongole ki Habitat for Humanity Uganda.
Owek. Robert Waggwa Nsibirwa azze mu bigere bya munnamateeka Muwanga Norah Mirembe Matovu abadde Ssentebe wa Bboodi eno eyamazeeko ekisanja kye.
Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa ekitongole kino nga kiriko omukono gw’ akikulira mu ggwanga, Robert Otim kitegeezezza nti Owek. Nsibirwa yeegatta ku kitongole kino mu 2021 era abadde ssentebe w’akakiiko akakinoonyeza ensimbi n’emikago.
Ekiwandiiko kinnyonyodde nga bwebalina essuubi mu kulondebwa kw’ Owek. Nsibirwa kubanga ono alina obukugu n’obumanyirivu mu kifo kino kuba akibaddemu nga yaliko Ssentebe wa Bboodi ez’enjawulo nga eya Greenhill Academy, Uganda Coffee Federation, atuula ku Bboodi ya Tondeka awamu n’obuvunaanyizibwa obulala bungi.
Akulira ekitongole kino mu ggwanga, Robert Otim yeebazizza abadde ssentebe wa bboodi Muwanga Norah Mirembe Matovu, olw’obuweereza bw’abadde era naayaniriza Owek. Waggwa Nsibirwa olw’okukkiriza obuvunaanyizibwa buno.
Kinajjukirwa nti ekitongole kino ki Habitat for Humanity Uganda kirina enkolagana n’Obwakabaka mu nteekateeka ya ‘Kaalo Kalungi’ mwebayita okuzimbira abantu abeetaaga okubeerwa amayumba okusobola okutumbula embeera zabwe.









