
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo asisinkanye ababaka b’ Abataka b’Obusolya ebweru w’eggwanga nabasaba okunyweza ennono n’obuwangwa era babibangule abalala.
Bino bibadde mu nsisinkano eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokutaano ng’okusinga ebaddemu ababaka abawangaalira e Bungereza ne Ireland.
Owek. Kaawaase Kigongo asinzidde wano naasekerera abali benkwe abaluubirira okusaanyawo Buganda nti belimba kubanga Obwakabaka lwazi nakubiriza okufaayo okunyweza ebika byabwe nga beenyigira mu nteekateeka zaabyo.
Ono abasabye okufaayo okumanyisa ebika ku bika byabwe basobole okumanya ebikwata ku nsibuko yabwe era bafeeyo okusiga ensimbi kuno kiyambe okuleetawo enkulaakulana.
Akuutidde abantu okufaayo okukuuma obutondebwensi, kubanga bulina akakwate kanene n’obuwangwa bwa Buganda ng’era y’emu ku ngeri ezisobola okuyamba okutaasa emiziro gy’Ebika bya Buganda.
Owek. Kaawaase abasabye n’okwenyigira mu kuzza Buganda ku ntikko, nga balwanyisa obwavu; beekuuma endwadde, beeyonja, n’okusula obulungi olwo lwebajja okusobola okulaakulana.

Ye Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omutaka Namwama, Augustine Kizito Mutumba, abategeezezza ku Nnamutaayiika alambika entambuza y’emirimu mu bika, naabasaba okumweyambisa ennyo.
Ssentebe w’olukiiko lwa babaka ba bataka e Bungereza ne Ireland, Ssalongo Geoffrey Kibuuka ategeezezza nti basobodde okunyikiza obuwangwa n’ennono mu bantu ba Kabaka naddala abavubuka era bangi enteekateeka bagyaniriza.
Kibuuka agasseeko nti okusinga essira balitadde ku lulimi Oluganda, entuuma y’amannya n’emikolo gy’obuwangwa emikulu nga okwabya ennyimbe okusobola okukuza abaana babwe nga bamanyi obukulu bw’ensonga zino.









