
Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga yeebaziza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’okutumbula embeera z’abantu be mu myaka 30 gyamaze ku Nnamulondo.
Owek. Mayiga bino abyogeredde mu Lubiri e Mmengo bw’abadde awoza Olutabaalo wakati ng’Obuganda bujaguza emyaka 30 nga Beene alamula Obuganda ku Mmande era nalambulula ebimu ku bituukiddwako.

Owomumbuga ajukizza obuganda nti ensonga ya federo tebagivangako era bakusigala nga bagirwanirira bwatyo nasaba abavubuka okwagala Kabaka wabwe era bettanire enteekateeka zabangawo okubakulaakulanya.

Omukolo gw’Amatikkira gutandise nakusaba okukulembeddwamu Ssaabasumba w’essaza ekkulu elye Kampala, Paul Ssemogerere era bwabadde abuulira yebaziza Katonda olw’obuwangaazi bwawadde Omutanda nga alamula Obuganda.
Ssaabasumba alopedde Ssaabasajja Kabaka emize emibi egisesendde eggwanga lino omuli obubbi,enguzi n’ebirala byagamba nti bizizza eggwanga emabega.

Ye Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Namwama Augustine Kizito Mutumba ategezezza Nnyinimu nti ensonga y’okutumbula ennono n’obuwangwa bagisosowaziza nnyo nasaba abantu ba kabaka okwagala ennyo ebika byabwe.
Omutaka Namwama aloopedde Omutanda ebikolwa ebyeko ebikolebwa ku bantu be omuli okwokya amasomero nasaba ebikola okwekuba mu bifuba.
Omukolo guno gwetabiddwako; omumyuka wa Pulezidenti eyawummula, Edward Kiwanuka Ssekandi, bakatikkiro abawummula, Akulira oludda oluvuganya Owek. Mathias Mpuuga Nsamba, bannaddiini, ababaka ba Palamenti awamu n’abantu abalala.
Amatikkira gw’omulundi guno gatambulidde ku mulamwa ogugamba nti, “Tuwagire ebika byaffe tunyweze Nnamulondo.”









