
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga akyazizza Omwepisikoopi w’essaza lya Kasana – Luweero, Msgr. Lawrence Mukasa Lutwama namusaba okukola ennyo atumbule embeera z’abantu ba Kabaka mukitundu kino.
Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokutaano era abadde awerekeddwako Jjajjaawe, Omutaka Kasujja Sheba Kakande, ne bannaddiini abalala.
Owek. Mayiga amuyozaayozezza olw’okutuuka ku kkula lino wabula namusaba okutema empenda zaasobola okukozesa okuvvuunuka ebisomoozo ebimolekedde mu buweereza buno.
Ono yeebazizza olw’enkolagana eriwo wakati w’Eklezia ne Buganda era naasaba bongere okukwatagana okutumbula ekirime ky’ Emmwaanyi mu masaza g’Eklezia gonna mu ggwanga.

Katikkiro agamba nti Ekerezia elina ettaka ddene kwebasobola n’okuyigira okulima emmwanyi n’ebyobulimi ebirala okusobola okutumbula embeera z’abantu.
Mungeri yeemu Kamalabyonna ategezeza nti obwakabaka bwakwongera okutumbula enteekateeka ezikulakulanya abantu bakabaka nga bayita mu kutumbula ebyenjigiriza,ebyobulamu n’enteekateeka endala.
Ye Omwepisikoopi Msgr. Lawrence Mukasa Lutwama yeebazizza Katikkiro olw’okuweereza obulungi n’asaba abantu okumulabirako mu nsonga ez’enjawulo, ne yeeyama okutambulira awamu n’Obwakabaka, okukulaakulanya abantu.

Ono Katikkiro amuwadde ekitabo okumulungamya, so nga naye aguze ssatifikeeti ya 500,000/= okuwagira emirimu gy’Obwakabaka.
Kinajjukirwa nti oluvannyuma lwe eyali Omwepisikoopi w’essaza lino Paul Ssemogerere okulondebwa ku bwa Ssaabasumba bw’essaza ekkulu erya Kampala, Paapa Francis nga ayita mu mubaka we wano mu Uganda Luigi Bianco yalangirira Msgr Lawrence Mukasa Lutwama okubeera omusumba w’Essaza ly’e Kasana Luweero.
Kati ono agenda okutuuzibwa nga omusumba w’essaza lya kasana Luweero, nga 5/08 omwaka guno.









