
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Minisitule y’ebyemizannyo n’Okwewummuzaamu mu Bwakabaka ewadde ttiimu 16 ezisigadde mu mpaka z’Ebika by’ Abaganda emijoozi mwezigenda okuzannyira emipiira egisigaddeyo.
Enteekateeka ebadde ku Bulange, olwa leero ku Mmande nga gino gibakwasiddwa Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Okwewummuza, Oweek. Henry Ssekabembe.
Bwabadde abakwasa emijoozi gino, Owek Henry Ssekabembe agambye nti empaka zino za mugaso nnyo mu Buganda era ziyamba okugatta abaganda bonna.
Ttiimu eziweereddwa emijoozi kuliko; Omusu, Engeye, Ente, Ensenene, Empindi, Olugave, Embogo, Emamba kakoboza, Ekinyomo, Mamba namakaka, Effumbe, Omutima muyanja, Ekkobe, Endiga, Abalangira n’ Eng’onge.

Empaka z’ebika by’abaganda zezimu ku mpaka z’omupiira ezitegekebwa Obwakabaka buli mwaka zino nga zatandika okuzannyibwa mu mwaka gwa 1950
Ssentebe w’Olukiiko olutegesi, Hajji Sulaiman Magala ategeezezza nti omutindo mulungi ogw’oleseddwa mu mpaka ez’omwaka guno era naasaba abawagizi okwongera okweyiwa mu bisaawe okuwagira ebika byabwe
Ttiimu y’ekika ky’Embogo yeyasooka okuwangula engabo mu mwaka gwa 1950 ng’ate Endiga yeyawangula eky’omwaka oguwedde









