
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda busse omukago n’ekaddiyizo ly’ abazungu li Metropolitan Art Museum erisangibwa mu kibuga New York mu Amerika okusobola okutumbula Obuwangwa n’ebyobulambuzi.
Omukolo gw’okussa omukono ku ndagaano eno guyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwomukaaga. Ssaabawolereza w’Obwakabaka, Owek. Christopher Bwanika, yaatadde omukono ku ndagaano ku lw’Obwakabaka, so nga Alisa LaGamma, y’ataddeko ku lwa Metropolitan Museum.
Mu nkolagana ebangiddwawo, Obwakabaka buggya kweyambisa omutimbagano gw’ekitongole kino, okwolesa eby’obulambuzi byabwo byonna, kuba gukyalirwa abantu bangi okuva mu nsi yonna.
Enjuyi zombi zikakasizza nti ekolagana eno egenda kuyambira ddala okuza ebyobulambuzi mu bwakabaka kuntikko era balaze esanyu olwenkolagana gyebagunjizaawo okusitula ebyobulambuzi mu ggwanga.

Mungeri yeemu minisita wa gavumenti ez’ebitundu era ssabawolereza w’Obwakabaka bwa Buganda, Owek Christopher Bwanika yakikiridde katikkiro wa Buganda owek Charles peter Mayiga mu kutikkula essomero li Tripple Mars erisangibwa e Gganda mu Wakiso oluwalo mu bimuli bya Bulange e Mmengo.
Owek. Mayiga akubiriza abayizi okuwa bazadde baabwe ekitiibwa ate neyebaza abakulira esomero li Triple mars okusomesa nokwagazisa abaana ennono n’obuwangwa bwabwe.
Ono era akuutidde abantu ba Ssaabasajja okujjumbira ennyo enteekateeka z’Obwakabaka.
Ye akulira esomero lino yebaziza Obwakabaka olw’ekitongole ki Buganda Land Board ekyabasobozesa okufuna ekyapa ky’ettaka esomero kweritudde era nasuubiza okujjumbira enteekateeka z’Obwakabakka bwa Buganda zonna.









