
Bya Musasi Waffe
Kano – Nigeria
Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Prof. Twaha Kigongo Kaawaase atenderezza engeri abantu be Kano mu Nigeria gyebakozesaamu Tekinologiya okutumbula obuwangwa, ennono awamu n’okwekulaakulanya.
Owek. Kaawaase abadde akomekkereza obugenyi Beene bweyamutumako ne minisita Mariam Nkalubo Mayanja mu Lubiri lwa Emir w’e Kano, Alhajj Aminu Ado Bayero, gyamaze ennaku eziwerako.
Mu bimu ku bikujjuko ebyafundikidde obugenyi buno Owek. Kaawaase ne Owek. Nkalubo balagiddwa sineema (firimu) ezooleka eby’obuwangwa n’ennono z’ekitundu ekyo okwongera okimanyisa ensi.

Sineema zino zabadde zikwata lugendo lw’ebyobuwangwa n’ennono wamu n’ebyobulambuzi ebiri mu buli ssaza ly’ ekitundu kino.
Owek. Kaawaase, yeebazizza abakulu baayo olw’engeri gyebeyambisizzaamu tekinologiya w’okukwata n’okuzannya entambi za firimu okusobola okukuuma ebyobuwangwa, empisa n’ennono nebasobola okubyagazisa abavubuka abato.
Akiggumizza nti obuwangwa, ennono, empisa, obuntubulamu n’obulambolombo, gy’emirandira egiwanirira eby’enkulaakulana, nga n’olwekyo ensi ezinaabigayaalira zoolekedde okusaanawo.









