
Bya Musasi Waffe
Kano – Nigeria
Omukulembeze wa Kano ow’ennono Emir Alhajj Aminu Ado Bayero agabudde abagenyi be ab’enjawulo ekijjulo ekimanyiddwa nga ‘Royal Durbar Dinner’ okukomekkereza ebikujjuko by’omwaka guno.
Mu bagenyi abagabuddwa mwemuli, Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Prof. Twaha Kigongo Kaawaase, ng’ali wamu n’Owek. Mariam Nkalubo Mayanja nga bano eno Beene yabasindikayo okusobola okukiikirira Obwakabaka.
Ekijjulo kino kyakwatiddwa ku Ssande nga 2 July, 2023, nga kyetabidwako n’Omumyuka wa Gavana w’e Kano; Sultan we Agadez, mu Nigeria; b’Ambasada n’abakulembeze abalala.
Emir yeebazizza abagenyi be bonna omuli n’Obwakabaka, olw’okukkiriza okujaguza nabo emikolo gya Kano Durbar omwaka guno.
Ado Bayero agambye nti enteekateeka eno egenda kubayamba nnyo okutumbula ebyobulambuzi, obusuubuzi awamu n’ebyobuwangwa bwabwe eri ebitundu ebirala.

Ono asuubizza okolagana n’abakulembeze ab’ennono ku lukalu lwa Africa okulaba nga bafuna olukiiko olubagatta mwe basobola okuttanyiza ensonga z’obuwangwa, ennono, enkulaakulana y’abantu wamu n’ebyobulamu.
Mu bubaka bwe, Oweek. Kaawaase asiimye nnyo Emir olw’ekijjulo ate n’okusoosowaza Ssaabasajja Kabaka, awamu n’Obwakabaka bwa Buganda, ku mikolo gy’omwaka guno egya Kano Durbar.
Owek. Kaawaase alambise ebyaafayo ebigatta abantu ba Emir n’aba Buganda, n’asaba ekologana eno enywezebwe.
Ye Omumyuka wa Gavana wa Nigeria, aggumizza ensonga ya banabyabufuzi okukwatira awamu n’abakulembeze eb’ennono ku nsonga ezikwata ku muntu owa bulijjo.









