
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Minisita owa Gavumenti ez’ebitundu mu Bwakabaka era Ssaabawolereza, Christopher Bwanika akuutidde abakulembeze ba Nkobazambogo mu matendekero ag’enjawulo okubeera abasaale mukulwanyisa akawuka ka Mukenenya awamu n’emizze emikyamu.
Obubaka buno Owek. Bwanika abuweeredde mu Bulange e Mmengo bw’abadde asisinkanye bannankobazambogo okuva mu ssomero lya Kibuli SS ku Lwokutaano.
Minisita Owek. Bwanika abakubirizza abayizi bano okusoma ennyo okusobola okwanganga okusomozebwa kwonna mu bulamu bwensi eno era basobole okutuuka ku binene.
Owek. Bwanika bano abawadde amagezi batandike okuyiga okutereka ku nsimbi nga bayita mukwegatta naddala mu kitavvu kya Essuubiryo Zambogo okulaba nga bafuna kyebasobola okuteereka okwekulaakulanya .
Abasabye okwongera okukuuma obutonde bwensi , okulambula kubalwadde mumalwaliiro agenjawulo okweyisa obulungi okulaba nga baweesa Obuganda ekitibwa nokwenyumirizza mu lulimi oluganda .
Owek. Bwanika agambye abavubuka bano balina okuba abasaale okulwanyisa akawuka akaleeta mukenenya nagamba basaanidde okuwulirizza ennyo okulambikibwa okuva eri abasomesa naddala bo nga abakulembeze okulaba nga tebaggwa mukatego ka Sitaani .
Abayiizi bano babadde bakulembeddwamu omuyima w’ekibiina ekya Baganda Nkobazambogo ku Ssomero lya Kibuli SSS, Hajji Umar Mugerwa era asabye nti baagala okwongera okumanyisa abayizi ebikolebwa embuga , nagamba nti bakugenda maaso nokuwagira enteekateeka zonna ez’ Obwakabaka.
Enteekateeka eno eyatumibwa Ettu Kya Nkobazambogo ekolebwa amasomero gonna agalina ebibiina bya Baganda Nkobazambogo okubayamba okwenyigira mu nteekateeka z’Obwakabaka.









