
Bya Francis Ndugwa
Wankulukuku – Busiro
Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naggulirawo abantu b’ empaka z’ekikopo ky’amasaza eky’omwaka 2023, nga Nnantameggwa owa Busiro azannye ne Mawokota mu kisaawe e Wankulukuku ku Lwomukaaga.
Omutanda ku kisaawe atuuse ku ssaawa nga zoolekera e 10 era wabaddewo okusanyalala kw’ emirimu olw’abantu abangi ababadde bakwatiridde ku kkubo nga baagala okumwerabirako.
Ku kisaawe Nnyinimu ayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ng’ali wamu ne minisita avunaanyizibwa ku by’emizannyo mu Buganda, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu awamu n’abaami abalala.

Omutanda asiimye nalabula enyiriri z’abazannyi ba ttiimu zombi era oluvannyuma atadde omukono gwe ku mupiira era nagusimula ng’akabonero akagulawo empaka z’omwaka 2023 era Beene oluzze ku Nnamulondo olwo omupiira negutandika wakati wa batabani ba Ssebwana aba Busiro naba Kayima aba Mawokota.
Omupiira gutandise okunyumira abalabi era mu ddakiika y’e 13 omuzannyi Accram Muzannyi nasobola okufunira Busiro ggoolo esooka eyabadde eya Peneti oluvannyuma lw’ekisobyo ekyakoleddwa negubeera 1-0.
Eddakiika ng’eya 36 ey’omuzannyo, Abubaker Mayanja afunidde Mawokoto ggoolo ey’ekyenkanyi negudda ku 1-1 ate Kisolo John Innocent naateeba ebawadde enkizo okukulembera omuzannyo neguubera 1-2.

Omuzannyi Calvin Peter Emayo nakuba Busiro ewabi era wayise eddakiika ntono, agubadde mu mitambo nagumaliriza nga Mawokota ewangudde 3-1.
Omupiira guno gwetabiddwako; Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira David Kintu Wasajja, Omulangira Crispin Jjunju, Omumyuka Asooka owa Katikkiro Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, Sipiika Owek Patrick Luwaga Mugumbule, Owek Ahmed Lwasa, Owek. Daudi Mpanga,
Owek Noah Kiyimba n’abakungu abalala.
Empaka z’omwaka guno zivujjirirwa aba Kansai Plascon, Airtel Uganda, Centenary Bank, CBS Radio, BBS Terefaina ne UNAIDS.









