• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ssaabasajja Kabaka asiimye okulabikako eri Obuganda nga aggulawo empaka z’ekikopo ky’Amasaza 2023

Gambuuze by Gambuuze
June 21, 2023
in Amawulire, Ebyemizzanyo
0 0
0
Ssaabasajja Kabaka asiimye okulabikako eri Obuganda nga aggulawo empaka z’ekikopo ky’Amasaza 2023
0
SHARES
72
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Bulange -Mmengo

Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka asiimye okulabikako eri Obuganda ku Lwomukaaga luno bwanaaba aggulawo empaka z’ekikopo ky’omupiira gw’Amasaza ogw’omwaka 2023 mu kisaawe e Wankulukuku.

Kino kibikuddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga bw’abadde atongozza empaka zino mu bimuli bya Bulange ku Lwokusatu nasaba abantu okujja mu bungi babugirize Empologoma.

“Ssaabasajja Kabaka gy’ali mu Lubiri era alamula Obuganda. Era asiimye okulabikako eri Obuganda  ku Lwomukaaga luno ku Lwomukaaga luno nga atongoza empaka z’omwaka guno,” Owek. Mayiga bw’ategeezezza.

Owek. Mayiga asinzidde wano nawa abali mu nteekateeka y’ekikopo ky’Amasaza amagezi okukuuma empisa  n’obuntubulamu okusobola okukuuma ekitiibwa ky’empaka zino.

Owomumbuga awadde obweyamo eri abavujjirizi nti Buganda yakwongera okukwatagana nabo naabebaza olwokutegeera Ssaabasajja n’Obuganda.

Katikkiro yebazizza abavujjirizi olw’okutegeera obuzito bwa Ssaabasajja Kabaka, n’agamba nti obwakabaka bwebusinga okutegeerwa mu buvanjuba ne masekkati ga Africa, kino kijja kubayamba okulanga ebyamaguzi byabwe eri abo abeegasse ku Bwakabaka.

Minisita  w’Ebyemizannyo, Abavubuka n’Okwewummuza, Owek. Henry Kiberu Ssekabembe agamba nti essira balitadde ku kubangula abakulembeze ba ttiimu zino okuyamba omupiira ogw’okwongera okukula.

Ssentebe w’olukiiko olutegeka empaka zino, Sulaiman Ssejjengo annyonnyodde nti baliko  ennoongosereza zebakoze mu mateeka gempaka zino okwongera okugulongoosa era waliwo ebirungo ebyongeddwamu okusitula omutindo.

Empaka z’omwaka guno ziggulawo n’omupiira wakati w’ abawanguzi b’omwaka oguwedde aba Busiro bagenda kuba bameggana ne Mawokota mu kisaawe e Wankulukuku.

Abavujirizi b’omulundi guno ogwe 19 bakulembeddwamu Airtel, Kansai Plascon, Centenary Bank, BBS Terefayina, CBS n’abalala era nga bonna wamu bawaddeyo ensimbi ezisoba mu 400 okusobola okutambuza ekikopo kino.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist