
Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Minisita omubeezi ow’ebyobulimi, obutale n’obwegassi, Owek. Hajji Hamis Kakomo akubirizza abantu ba Beene bulijjo okubeera abasaale mu kutumbula eby’obulamu era bafeeyo okwekebeza era bejjanjabe bwebaba baagala okulaakulana.
Obubaka buno bino abyogeedde atikkula Abalyannaka abavudde mu ggombolola ya Mutuba VII Bamunaanika Kansekka mu Lubiri e Mmengo ku Lwokusatu.
Owek. Kakomo afalaasidde abantu okutwala ebyobulamu nga ekikulu era bafune enkola y’okwekebeza baleme kulinda birwadde kukula kibasobozese okutaasa obulamu nga bukyali.
Ono era abasabye okunyweza obumu era beenyigire mu nteekateeka za gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka zabaleetera okweggya mu bwavu.

Katikkiro w’ebyalo bya Kabaka, Omukungu Moses Luutu mu bubaka bwe ategeezeza nti amaanyi ga Buganda geesigamye ku nnono nampisa bwatyo nasaba abazadde okusiga mu baana ensingo ezo olwo Buganda etojjere.
Amyuka Kangaawo Asooka Margret Namagambe yeebaziza Ssaabasajja Kabaka olw’okusoosowaza eby’enjigiriza mu Ssaza Bulemeezi era asabye abazadde okujjumbira okuweerera abaana .
Ye Omwami wegombolola mutuba VII Bamunaanika, Buliggwanga Richard Ntambi anyonyodde nti bajjumbidde obulimi naddala ekirime eky’emmwaanyi okuyitimusa Bulemeezi.









