
Bya Musasi Waffe
Mbarara – Ankole
Omwami wa Ssaabasajja Kabaka avunaanyizibwa ku bitundu bya Ankole, Hajji Mutaasa Kafeero asabye abavubuka bulijjo okubeera n’essuubi, abakozi era abagumiikiriza bwebaba baagala ebiseera byabwe eby’omu maaso bibeere bitangaavu.
Obubaka buno Hajji Kafeero abutisse omumyuka we Johncrezestom Kalibbala ku mukolo bannankobazambogo kwebakyuusiriza obukulembeze ku wooteri ya Diasy Motel mu kibuga Mbarara.
Bano era basabiddwa okubeera omumuli gwa Buganda yonna gyebawangaalira era bafube okulaba nti bamanya ennono n’obuwangwa kiyambe Buganda okudda ku ntikko.

Ssentebbe abaddeko Wasswa Ssali Paul agamba nti ekibiina kino kibayambye nyo okwegatta nga abayizi era bingi ebituukiddwako wadde nga wabaddewo okusomoozebwa okwenjawulo.
Mu ngeri yeemu, Ssentebe wa Nkobazambogo mu ggwanga, Kakeeto Hannington SSeremba asabye abakulembeze abalondeddwa okubeera omumuli ogwaka eri abantu bebakulembera basobole okuweesa obuganda ekitiibwa.
Abakulembeze abajja bakubye ebirayiro byabwe nga bakulembedwamu Ssebalu Augustine nga ono yalondeddwa nga ssentebbe omuggya okudda mu bigere bya Wasswa Ssali Paul.
Omukolo guno gwatandise n’empaka z’e Ntanda ya Buganda abamegganyi bwebolesereza obumanyi mu lulimi oluganda era nga zino ziwangudwa Muddu Alex eyedira eNkima .









