
Bya Ssemakula John
Kakeeka – Mmengo
Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’okwewummuza, Oweek Henry Sekabembe Kiberu, akuutidde abavubuka bulijjo okulwanirira Nnamulondo akadde konna kuba bebakulembeze ab’enkya.
Obubaka buno, Minisita Ssekabembe abuweeredde mu lusirika lw’abavubuka b’eggombolola 174 ku Lwomukaaga e Mmengo Kakeeka.
Owek. Ssekabembe abakulembeze bano abasabye obutakulembeza bitiibwa , buyinza n’amaanyi nga bakola emirimu.
Minisita Ssekabembe bano abawadde obuyinza okuddayo balondese obukulembeze okuva ku muluka okutuuka wansi ku byalo kiyambe okumanyisa enteekateeka za Buganda okutuukira ddala ku muntu asembayo wansi.

Oweek Sekabembe agamba nti omuvubuka asembayo wansi bweyetaba mu nteekateeka z’Obwakabaka, olwo Buganda eba ejja kunyweza emirandira gyayo ku buli mutendera.
Omukiise w’abavubuka mu Lukiiko lwa Buganda, Owek. Joseph Balikuddembe alambuliridde abavubuka bano ku nsegeka y’obukulembeze mu Buganda era nabasaba baginyweze.
Ssentebe w’olukiiko olutaba abavubuka mu Buganda, Omuk. Baker Ssejjengo asabye abavubuka bano okuteeka byebayize mu nkola era bagatte ettofaali ku nkulaakulana ya Buganda.

Ensisinkano eno yetabiddwamu abakiise b’abavubuka mu Lukiiko lwa Buganda, ekitongole kya Buganda Land Board, Essuubiryo Zambogo SACCO, Buganda Youth Council, n’abakulembeze abalala.









