
Bya Ssemakula John
Los Angeles – Amerika
Katikkiro Charles Peter Mayiga awadde gavumenti yakuno amagezi okusembereza abantu amazzi, amasanyalaze awamu n’amasimu bweba eyagala bakulaakulane mu bwangu.
Okwogera bino Katikkiro Mayiga abadde agenyiwaddeko ku kitebe kya bannamikago aba Wells of Life abayambako okuzimbira abantu ba Beene enzizi n’okuzidaabiriza, e Orange County mu Los Angeles ku Lwokusatu.
Owek. Mayiga agamba nti gavumenti eyimba nnyo eky’okukola enguudo n’okuzimba ebizimbe naye bino enkulaakulana yabyo tetuuka butereevu ku muntu agyetaaga.
Ono yeebazizza aba Wells of Life nebabakwasizaako olwomutima omuyambi eri abantu oba olyawo bebatalisinkana okulaba nga nabo basobola okubeera mu bulamu obulungi.
Owek. Mayiga wano wasinzidde nasaba bannayuganda okulaba omukisa oguliwo kuba Uganda ejjudde mazzi nga singa bafuna amazzi amayonjo basobola bulungi okuwangaalira mu mbeera etatawaanyizibwa nnyo ndwadde eziva ku bucaafu.

Akulira ekitongole ki Wells of Life, Nick Jordan, agamba ye ne famire ye nabantu ababakwatiddeko baagala okulaba nga abantu bafuna amazzi amayonjo era wadde bazimbye n’okuddaabiriza ezisoba mu 1000 baagala okulaba nga zino zongerwako mu bbanga eritali ddene okusobozesa abantu abawera okuganyulwa mu nteekateeka eno.
Mu ngeri yeemu Katikkiro Mayiga atuuseeko mu maka ga Nick Jordan ewabadde abantu abalala abayambako mukuwaayo ensimbi ezisima awamu n’okudaabiriza enzizi zino.
Ekitongole kino kiri ku musingi gwa ddiini era Katikkiro akyaddeko ne ku Eklezia ya Diocese of Orange County Cathedral okwongera okunyweza obumu n’enkolagana.
Mukuumaddamula abadde awerekeddwako Omulangira David Kintu Wasajja, Owek. Joseph Kawuki, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo, Owek. Haji Mutaasa Kafeero, Abakulira ebitongole byobwakabaka abenjawulo nabantu abalala.
Kinajjukirwa nti aba Wells of Life baakasima enzizi ezisoba mu 800 nokuddaabiriza ezisoba mu 100 mu Uganda mu Kassanda Mityana Mubende newalala kyokka nga beetegefu okwongera okuyamba mu ngeri ezitali zimu.









