• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga atuuzizza omwami w’essaza lye California, abaayo abasabye okusiga ensimbi ku butaka

Gambuuze by Gambuuze
June 5, 2023
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga atuuzizza omwami w’essaza lye California, abaayo abasabye okusiga ensimbi ku butaka
0
SHARES
29
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Amerika

Katikkiro Charles Peter Mayiga awadde bannayuganda abawangaalira ebunaayira amagezi  okufisangawo akasente basobole okukasiga ku butaka nga bwekiri ku bannansi ba Ethiopia ne Somalia.

Bino abyogeredde ku Citrus Height Community Centre mu Sacramento mu kutuuza abaami b’essaza lye California Nevada eriri mu mambuka ga San Francisco mu America gyamaze wiiki nnamba ku bugenyi obutongole okuva mu Bwabakabaka.

Ow’omumbuga agamba nti kino basobola okukikola nga beekolamu ekibiina (SACCO) kyokka baleme kulinda kulindirizza nnyo .

Owomumbuga ategeezezza  nti nebwebatandika nga batono kubanga si nti buli omu aba alaba ekirungi ekikirimu mbagirawo naye kigenda ku bayamba nnyo ng’abantu ate n’okuyamba abo bebaleka okwaboobwe.

Abaami abatuuziddwa kuliko Owek. Patrick Nalikka Ssendegeya n’omumyuka we Dr. Paul Kiruuta awamu n’olukiiko lwebagenda okukola nalwo wabula omu ku baami bano tasobodde kubaawo ku mukolo guno olw’emirimu gyabadde yagenzeeko.

Omumyuka Dr. Kiruuta yeebazizza  omugenzi Dorothy Mugerwa olw’okuweereza Kabaka obuteebalira kyokka nasaba abalondeddwa okunoonya abantu ba Kabaka yonna gyebali mu ggwanga lino okubakumaakuma.

Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu era avunaanyizibwa ku bantu abawangaalira ebweru wa Buganda ne Uganda, Owek. Joseph Kawuki abasabye okunyweza obumu kyokka babe basaale mu kuwagira enteekateeka za Buganda.

Era ku mukolo guno banna Rotary mu ttabi lya Antioch ababadde bakungiddwa Dr. Kiruuta kwebaweeredde Katikkiro Mayiga cceeke ya ddoola 7000 okuyambako ku nteekateeka y’okufunira abantu ba Kabaka amazzi amayonjo.

Pulezidenti wa kiraabu ya Antioch yategeezezza nti kikulu nnyo abantu okufuna amazzi amayonjo okusobola okugoba endwadde era yeyamye okusigala nga bakola kyebasobola okuyambako.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist