
Bya Ssemakula John
Ssonde – Kyaddondo
Omumyuka Asooka owa Katikkiro Hajji Prof Twaha Kaawaase Kigongo ategeezezza nti ebibala by’abazadde birabikira nnyo ku baana naddala ku ngeri abaana gyebabeera bakuzeemu, emirimu gyebakola awamu n’empeereza yabwe.
Obubaka buno Owek. Kaawaase abuweeredde Ssonde mu Namugongo mu Mukono bw’abadde agenze okukubagiza ab’enju ya Mpanga olw’okufiirwa nnyabwe, Damalie Mpanga eyafudde wiiki eno ku Lwokubiri .
“Waliwo abazaala nazaalira ensi naye bwentunuulira Owekitiibwa ne famire yonna awamu n’obuweereza bwemukoze eri Ssaabasajja Kabaka, tulaba abazadde abateekateeka abaana obulungi,” Owek. Kaawaase Kigongo bw’ategeezezza.

Prof. Kaawaase asinzidde wano nasomooza abantu abanyooma n’okutyoboola abakyala okukikomya kuba bano bakola omulimu munene okuzimba abaana b’eggwanga n’okunyweza amaka.
Owek.Isaac Mpanga yebaziza Ssaabasajja olwokumuwa omukisa okumuweereza era agamba nti yenyumiriza mu nkolagana ya Family nobwwkabaka evuddemu ebibala nkumu.
Omugenzi Damalie Mpanga yazaala Oweekitiibwa Isaac Mpanga, Ssentebe w’akakiiko k’Olukiiko ak’ebyamateeka, era akiikirira bannamateeka mu Lukiiko lwa Buganda.









