
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda busaasidde ab’enju ya minisita omubeezi ow’abakozi Charles Okello Engola eyatiddwa omukuumi we olunaku lw’eggulo.
Obubaka buno busomeddwa omwogezi w’Obwakabaka era minisita w’Amawulire Noah Kiyimba bw’abadde mu lukung’aana lwa bannamawulire ku Lwokusatu.
“Tutuusa obubaka obw’okusaasira eri ab’enju y’omugenzi Col. Charles Okello Engola eyattiddwa olunaku lw’eggulo.Amawulire g’okutemulwa kwa Col. Charles Engola twagafunye n’entiisa nyingi nnyo wano mu Bwakabaka,” Minisita Kiyimba bw’ategeezezza.
Owek. Kiyimba agasseeko nti Buganda yanyoleddwa wamu ne mukyala we, abaana awamu n’abantu babadde akiikirira mu Palamenti aba Oyam North.
Obwakabaka era busabye gavumenti ekole okunoonyereza okusobola okuzuula ensonga entuufu eyaleetedde omujaasi ono okutta mukama we era obuzibu obwavuddeko akabi kano bunogerwe eddagala okusobola okuziyiza ebikolwa bino obutaddamu kulabikako.









