
Bya Ssemakula John
Kampala
Ebipya bizuuse ku ngeri omukuumi wa Minisita w’abakozi Charles Okello Engola gyeyamukubyemu amasasi namutta.
Ebitalo bino byaguddewo ku ssaawa 2 ez’okumakya ku Lwokubiri nga kigambibwa nti omujaasi Pte. Wilson Sabiti yakubye mukama we amasasi nga ava mu makaage e Kyanja okugenda mu kibuga okukola.
Pte. Sabiiti oluvannyuma yekubye amasasi agamusse.
Okusinziira ku bizuuliddwawo biraga nti Sabiiti olukwe yatandise okululuka nga mukama we yeetegeka okuva ewaka.
“Yasoose kukuba mujaasi mulala atambula ne minisita ng’ono yamusanze alongoosa mmundu ye,” Ensonda bwezitegeezezza.
Omujaasi Sabiiti kigambibwa nti abadde ava mu ‘bataliyooni ya’ 59 mu kibinja eky’okuna ekiri e Gulu era oluvannyuma yakyukidde ddereeva wa minisita namulagira afulume agende kuba yabadde tamulinako buzibu.
Wabula Minisita w’ekikula ky’abantu, Betty Amongi ategeezezza bannamawulirea nti omujaasi ono abadde yakasindikibwa mu mwezi gumu okutandika okukuuma minisita ono era yabadde naye mu mmotoka yemu e Namutumba ku lunaku lw’abakozi.

Okusooka, omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga ategeezezza bannamawulire nti Col.(Rtd) Charles Engola yattiddwa nga agezaako okuyingira emmotoka agende ku mulimu.
Minisita w’Amawulire, Dr. Chris Baryomunsi agamba nti okunoonyereza kwa poliisi ku nsonga eno kwatandise dda era mu bwangu bajja kumanya ekyavuddeko omujaasi ono okutemula mukama we.
Baryomunsi agamba nti ettemu lino welyabereddewo, minisita yabadde mu mmotoka munda nga omulala omukuumi aleeta bbendera bagiteeke ku mmotoka beeyongereyo.
“Yazze, omukuumi namuggulira oluggi era minisita natuula emabega. Omukuumi omulala yabadde aggyayo bbendera beeyongereyo. Wano Sabiiti yaggyeeyo emmundu nakuba omukuumi era namulumya, wano minisita yagezezaako okuva mu mmotoka adduke kyokka nakubwa amasasi agamutiddewo,” Minisita Baryomunsi bw’ategeezezza.
Wabula ebigambo bya Minisita Baryomunsi bigaanye okukwatagana n’abamu ku bantu omuli ab’omuliraano awamu nabo abeerabiddeko nga bino bibaawo ku kituufu ekyabaddewo ng’ ettemu lino likolebwa.









