• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Abaganda abawangaalira e Texas basabiddwa okukuliza abaana mu mpisa

Gambuuze by Gambuuze
May 2, 2023
in Amawulire
0 0
0
Abaganda abawangaalira e Texas basabiddwa okukuliza abaana mu mpisa
0
SHARES
24
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Texas – Amerika

Abantu ba Kabaka abawangaalira ebweru w’eggwanga basabiddwa bulijjo okubeera abawulize eri Nnamulondo era balwane okulaba nti abaana babwe babakuliza mu mpisa za Buganda okwewala amayano agayinza okutuukawo.

Okusaba kuno kukoleddwa minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu era avunanyizibwa ku bantu ba Kabaka abawangalira ebweru w’eggwanga, Owek. Joseph Kawuki bwabadde ayogerako n’abantu ba Beene abawangalira e Texas mu America nga bakuza olunaku lwa Buganda.

 Bw’abadde ayogerako eri abantu abeetabye ku mukolo guno,  Minisita Joseph Kawuki asabye abantu ba Kabaka bulijjo okunyweza obumu era banyweze emiramwa Buganda kwerina okutambulira.

Abasabye okusabira abaana babwe baleme okuyingirira emize gikyaase ennyo ensangi zino naddala mu bitundu gyebawangaalira kuba amateeka gaayo gabakkiriza naye bamanye nti balina okutambula nga abantu ba Buganda.

Owek. Kawuki bano abalabudde ku bantu abatambuza engambo ezitaliiko mitwe namagulu ku mutimbagano naddala ezo ezityoboola Nnamulondo awamu n’abaweereza ba Buganda.

Ono asabye abantu bano okuyambako ebitundu eby’enjawulo okufuna amazzi amayonjo  nga beekung’aanyamu ssente nebasimira abantu enzizi nga bannabwe  ab’e Kansasi ne Colorado bwebakola.

Omugenyi omukulu ku mukolo guno, Omukenkefu era munnamateeka Mubiru Musoke okuva e Atalanta mu Georgia, ajjukizza abeeno engeri Buganda gyeyazimbibwamu awamu n’amasiga amakulu  agayimiriddeko Obwakabaka era nebasabibwa okugakuuma.

Omukolo guno gwetabiddwako abantu ab’enjawulo okubadde Andrew Mulindwa abadde omuwanika, Ssaalongo Roy Kayizzi ng’ono muwandiisi  ne Betty Sserunjogi abadde omukunzi w’abantu, Kiwewesi Badru Yiga,  Peter Sserunjogi, Muwanga Batuuka, Paasita Ismael Kigozi,Omumbejja Jackie Nakalema,  Jane Kibuule, Ronah Nakalema Kabali, Mulimira Baker, Harriet Walulya, John Musoke ne Mathias Kyobe.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist