
Bya Maria Nassolo
Bulange – Mmengo
Minisita avunaanyizibwa ku bavubuka n’ebyemizannyo mu Bwakabaka, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu akunze abantu ba bonna mu ggwanga okujjumbira emisinde gy’omwaka guno.
Okukunga bano, minisita Ssekabembe abadde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri nga ayogerako eri bannamawulire ku nteekateeka zino nga bweziyimiridde.
“Guno gwemulundi ogw’e kkumi nga Ssaabasajja asiima n’asimbula emisinde gy’amazaalibwa ge, neebaza abantu mwenna abazze bajjumbira n’okwetaba mu nteekateeka eno ey’obugunjufu,okuyamba abo abalina obwetaavu n’okusitula ekitiibwa ky’obwakabaka buno” Owek.Ssekabembe bw’ategeezezza.
Owek.Ssekabembe asabye abantu ssekinoomu wamu n’ebitongole okutwaliza awamu, okwettanira ebifo ebitundibwamu obujoozi babwefunire mu bwangu nga bukyali ku mitwalo 20000 olwo balindebulinzi lunaku mulindwa nga 16.04 ku sande eno.
“N’olw’ekyo nsaba abantu ba Kabaka mwenna okugenda mu bifo ebyo byetuzze tubategeeza mwefunire obujoozi , mulindirire olunaku mulindwa nga Ssaabasajja atusimbula mu Lubiri lwe e Mmengo kubanga kuluno kijja kuba kyanjawulo”. Owek. Ssekabembe bw’ategeezezza.
Mubuufu bwebumu obwo, minisita akubirizza abantu ba Beene bonna gyebali okukorelanga ebintu mu bwangu ate budde bwabyo okusinga ng’okulinda ekiseera ekisembayo nga mu ngeri eno mwebajja okuyita okuzimba Obuganda.
Bino webijjidde nga abantu ab’enjawulo n’ebitongole bakyagenda mu maaso n’okugula obujoozi bw’emisinde gino egigenda okuddukibwa ku Ssande eno, muno mulimu ekitongole ki Buganda Land Board (BLB).
Mu ngeri yeemu n’ omubaka wa Busiro North, Paul Nsubuga agulidde Bannabusiro emijoozi gy’emisinde gya Kabaka egigenda okubaawo ku Ssande eno, gyagenda okugabira abantu be okubasobozesa okwetaba mu nteekateeka eno.









