Bya Ssemakula John
Kigo – Busiro
Kampuni ya Henan Gouji Corporation nga bano be bannamukago abazimbira Obwakabaka ennyumba ez’omulembe eza Mirembe Villas ne Ssentema bawadde Nnyinimu Amakula ga nnyumba 3 ez’omulembe e Kigo mu Busiro.
Omukolo guno guyindidde mu Busiro e Kigo ku Lwokuna era Katikkiro Mayiga nabeebaza olw’okuleeta enkulaakulana.
“Tukungaanye wano okukwasibwa Amakula ga Ssaabasajja Kabaka ag’ ennyumba esatu ezizimbiddwa bannamukago aba Gouji Corporation. Mu nnono zaffe Ssaabasajja Kabaka aweebwa Amakula,” Owek. Mayiga bw’ategeezezza.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga wadde guno mukago nga aba Gouji, Buganda yabawa ettaka nebazimbako amayumba naye mu ngeri y’okusiima basazeewo okuddiza ku Beene nga bamuwa Amakula.

Owek. Mayiga annyonnyodde nti aba Gouji be bannamukago abakolaganika nabo kuba basiga ensimbi era ebibala birabika e Kigwo ne Ssentema.
Ono agasseeko nti wadde nga Buganda beetegefu okukolagana n’abantu abalala bangi naye baagala nnyo okukolagana n’abantu abamanyi kyebaliko so si kufuna mikago gyakwekubya bifaananyi.

Katikkiro Mayiga era agambye nti aba Gouji baagala Obwakabaka okubongera ettaka era ensonga eno wakugitegeeza Omutanda asalewo.
Omukolo guno gwetabiddwako Ssaabawolereza w’Obwakabaka Oweek Christopher Bwanika, Ssentebe wa Buganda Land Board Oweek Martin Sseremba Kasekende, n’abakungu ba Kabaka ab’enjawulo.









