Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Obwakabaka bukubiriza abakulembeze mu Buganda okwewala okuggyibwa ku mulamwa olw’ebiyitingana nebyogerwa abatamannya ngamba kuba balina ebigendererwa by’okuzza Buganda emabega.
Obubaka buno buweereddwa Katikkiro w’ Ebyalo bya Kabaka bw’abadde atikkula Amakula okuva mu Bannamawokoto mu Lubiri e Mmengo ku Lwokusatu.
Bano abasabye okutwala ebyo byokka ebifulumizibwa emikutu emitongole egy’Obwakabaka kuba mwemuyita eddoboozi ly’Obwakabaka.
Owek. Luutu bano abasabye okukola ennyo beegobeko obwavu nga beenyigira mu nteekateeka ez’enjawulo ezireetebwa Beene okubakulaakulanya.
Amakula gano galeeteddwa abantu b’eggombolola ya Musaale Buwama okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe buno obw’okuvujirira embiri z’Omutanda.
Owek. Luutu era awadde abakulembeze mu Buganda amagezi okwewala ebisoomozo okubagya ku mulamwa wabula batema empenda okubigonjoola basobole okutuukiriza obuvunannyizibwa bwabwe olwo Buganda edde ku ntikko.
Omwami wa Kabaka atwala eggombolola eno eya Musaale Buwama, Yoana Maria Ssegiriinya asabye abantu ba Kabaka okunyweza obumu olwo basobole okutuukiriza obuweereza bwabwe eri Kabaka.