
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye Abalangira b’e Ssanje okukozesa Tekinologiya okukuuma obukulu bw’ Ebika era baleme okukkiriza ebipya ebiva mu saayansi kuba bigendereddwamu kubaggyako byabwe.
Okwogera bino, Katikkiro Mayiga abadde asisinkanye Abalangira b’e Ssanje mu Bulange e Mmengo ku Lw’okusatu okubaako ensonga enkulu zebateesaako.
“Tuleme okukkiriza Saayansi ne Tekinologiya okutuggyako ebintu byaffe, ekimu ku bisingira ddala obubi, obufuzi bw’Amatwale kyebwatuleetera kwekutulowoozesa nti ebyaffe byadda, byawansi, bibi naye ebyabali abagwiira byebirungi,” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.
Owek. Mayiga agamba nti mu mulembe guno tekinologiya ne Saayansi birina kuyamba kutumbula Bika naddala nga bayita mu kuwandiika okusobola okukuuma ebyafaayo n’ennono abaliddawo basobole okugisanga mu myaka egijja.

Ono annyonnyodde nti singa kino kinaakolebwa bakukola ekitabo ekyawamu nga Buganda, ekinaalombojja kalonda yenna akwata ku Bika eby’enjawulo mu Buganda.
Owek. Mayiga akuutidde abakiise embuga okumanya obukulu bw’Ebika kuba bino byebimu ku masiga asatu Buganda kwetudde nga muno mulimu Olulyo olulangira, Ebika awamu n’Obwami nga bino mwemuli obulombolombo, obuwangwa n’ennono ebiggyayo ekifanaanyi ky’Omuganda.
Ow’Omumbuga Mayiga abasabye bulijjo okuleeta abaana embuga basobole okuyiga eby’ensonga n’engeri Buganda gyetambulamu kulw’ ebiseera eby’omu maaso.

Ssaabalangira we Ssanje abava mu Kibi Kaganda, Paul Kalema Lutayinzibwa ategeezezza nti akulembera emituba 11 nga gyonna girina obutaka e Ssanje naye wadde baweebwa mayiro 8 okuva mu Bwakabaka naye waliwo abeesomye okulibanyagako.
Ono annyonnyodde nti endyo zaabwe zeetaaga enkulaakulana naddala mu Bika okusobola okutumbula eby’enjigiriza, eby’obulamu n’enkulaakulana.
Ssaabalangira Kalema era aloopedde Katikkiro Mayiga ng’ Olubiri lw’ Eng’oma bweruli mu mbeera embi nasaba Buganda eteekeko lwakiri essomero okusobola okulikuuma.









