
Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni asabiddwa obutatya mawanga g’abazungu agatandise okutiisatiisa nga bwebagenda okusalako Uganda obuyambi singa ateeka omukono ku tteeka lya ‘Anti-homosexuality Bill 2023′ eryayisiddwa Palamenti.
Okusaba kuno kukoleddwa amyuka ssentebe w’akakiiko ka Palamenti ak’empisa n’amateeka agafuga ababaka, Fr. Charles Onen era nga ye mubaka wa Gulu East mu lukiiko olukulu.
Onene agamba nti kati ennaku ziyise 12 nnamba okuva Palamenti lweyayisa etteeka lino era nga Ssemateeka alagira nti Pulezidenti alina okuliteekako omukono ogulikakasa ng’ ennaku 60 tezinayita.
Fr. Onen ategeezezza nti tewali kirina kutiisa Pulezidenti kuteekako mukono kubanga waliwo amawanga amalala mangi agalina amateeka agatangira omuze gw’ebisiyaga era amawanga g’abazungu tegalina kyegali gabakoze.
Ono era asabye Pulezidenti Museveni alabule amawanga gano gamanye nti Uganda nsi eyeetengeredde ate erimu abantu abagirumirwa ng’era batya Katonda.
Omubaka Onen agasseeko nti Uganda terina kutya kuyisa tteeka lino ng’etya okusalwako obuyambi kuba ebiseera by’eggwanga eby’omu maaso birina okutaasibwa.
Bino webijjidde nga ebitongole, ebibiina n’amawanga g’abazungu gamaze dda okulabula Pulezidenti Museveni nga bwegajja okusala ku buyambi singa kamutanda nateeka omukono ku tteeka lino.









