
Bya Ssemakula John
Kampala
Amawanga ga ‘West Africa’ ne ‘North Africa’ gegamu ku gasoose okukola ebyafaayo nga geesoga empaka za Africa Cup of Nations 2024, nga ku gano kuliko abategesi aba Ivory Coast, Morocco, Algeria, Tunisia, Burkina Faso ne Senegal.
Abasooseeyo be bannantameggwa ab’empaka eziwedde aba Senegal nga bano okuyitawo bakubye Mozambique eyabadde ewaka ggoolo 1-0 neweza ggoolo 7 kubanga ogwasooka yagikuba 6-1.
Senegal esigazayo emipiira 2, ekulembedde ekibinja L n’obubonero 12 ate nga Mozambique eri mu kifo eky’okubiri erina obubonero 4 bwokka.
Ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes naye erumbye Tanzania omwayo mu kisaawe kya Benjamin Mkapa n’egikubirayo ggoolo 1-0 eyatebeddwa Rogers Mato bwetyo netangaaza ku mikisa gyaayo wadde ekyetaaga essaala.
Uganda Cranes kati yakusatu mu kibinja F n’obubonero 4 era nga basibaganye ne Tanzania eri mu kifo eky’okubiri nayo erina obubonero 4.
Algeria yayiseemu mu kibinja nga ekulembedde nobubonero 12 ate nga Niger esembye nobubonero 2.
Buli ttiimu mu kibinja kino esigazayo emipiira 2, era Uganda Cranes yakukomawo mu kisaawe mu mwezi ogw’omukaaga okuzannya ne Algeria n’oluvanyuma esembyeyo Niger.









