
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Minisita omubeezi ow’ebyobulamu era omubaka wa Mawogola West, Hanifah Bangirana Kawooya afukamidde ku maviivi nasaba Obwakabaka okubayita bakkaanye ku nsonga z’ettaka lye Mawogola ezifuuse namulanda.
Okusaba kuno akukoledde mu Bulange e Mmengo ne babaka banne abava mukitundu kye bwebabadde beetabye mu nteekateeka y’ Oluwalo ku Lwokubiri.
“Tulina ensonga nga abakulembeze mu disitulikiti ye Ssembabule zetusaba zigwere embuga kuba ndowooza nti bwetusisinkana tugondezebwamu. Bintu byattaka, bya nkulaakulana. Tulina ekizibu kya ddwaliro erisobola okulaakulanya ekitundu kyaffe tetwetaaga nkayana, nze omuzaana wa Kabaka nti ate ndi mu kkooti, bwasiima ettaka ampa buwi. Nkusaba otuyite ne Muteesa awamu n’omumyuka we ebintu tubitambuze nga bwebirina okubeera, ” Kawooya bw’annyonnyodde.
Minisita Kawooya yeetonze kwebyo ebibeera bitambudde obubi naddala erinnya lye mwerirambikira nategeeza nti ebiseera ebisinga abeera ali ku mirimu gya gavumenti eyawakati.

“Ebibeera bitatambudde bulungi gibeera mirimu gya gavumenti gyemberako naye singa tukwatagana bulungi tusobola okutwala essaza lyaffe mu maaso,” minisita Kawooya bw’ategeezezza.
Bangirana ategeezezza nti buli omu kye yeetaaga kwekulaba nti Uganda ne Buganda bibeera bya mirembe ebisobola okulaakulanira awamu.
Ono yeeyamye okwongera okubeera omuwulize eri Obuganda Katikkiro ne Ssaabasajja Kabaka okuzza Buganda ku ntikko wadde nga waliwo ebisomooza.
Hanifah Kawooya yeebazizza Obwakabaka olw’okutumbula eby’obulamu mu Buganda nga bakwatagana butereevu ne Minisitule y’ebyobulamu nga balwanyisa endwadde, okugaba omusaayi awamu n’okutegeka emisinde nebalwanyisa endwadde ez’enjawulo.
Ono asabye babaka banne bulijjo okuyimirirawo ku nsonga za Buganda nga bwebakola baleme kwebulankanya nga okusalawo ku nsonga za Buganda zituuse naddala mu lukiiko olukulu olw’eggwanga.
Bwatyo naatendereza Bannamawogola batambudde nabo okukiika embuga nabasaba bulijjo okusitukirangamu nga bayitiddwa embuga.









