• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Uncategorized

Ow’olubuto agambibwa okutemula bba eyali yakayimbulwa okuva mu kkomera asindikiddwa mu kkooti enkulu

Gambuuze by Gambuuze
March 28, 2023
in Uncategorized
0 0
0
Ow’olubuto agambibwa okutemula bba eyali yakayimbulwa okuva mu kkomera asindikiddwa mu kkooti enkulu
0
SHARES
64
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Wakiso – Busiro

Omukazi w’olubuto ow’emyaka 20 asindikiddwa mu kkooti enkulu  ku misango gy’okutemula bba eyali yakayimbulwa okuva mu kkomera.

Omulamuzi omukulu owa kkooti esookerwako, Stella Maris Amabillis yasindise Neymar Fidali nga mutuuze we Kakindu Katabi bweyabadde amuvununira ekiwandiiko ekimusindika mu kkooti enkulu.

“Omusango gwo tegukyali mu mikobo gyange. Togenda kuddamu kuleetebwa mu kkooti eno okuwulira omusango guno, ojja kulinda otwalibwe mu kkooti enkulu e Kampala oba wano oba wonna awalisalibwawo,” omulamuzi Amabillis bw’annyonnyodde.

Fidali yali  mukyala wa Tonny Mbaziira eyakwatibwa mu 2019 ku misango egimu  naggalirwa.

Kigambibwa nti ekiseera Mbaziira weyabeerera mu kkomera, Fidali yafuna omusajja omulala eyategeerekeka nga Jonah nga wa Booda booda nebaagalana.

Oluvannyuma lw’akabanga, Mbaziira yayimbulwa naye nasanga nga Fidali yafuna omusajja omulala.

Bano baddamu okwagalana kyokka Fidali nasigala nga ayagalana nowa Booda.

Ku lunaku lwa August 26, 2022 yakomawo ewaka kyokka Fidali teyaliiwo wabula bweyamukubira essimu yamuddamu nti yali mu bbaala e Kawempe nowa Booda bwaba ayagala agendeyo amunone.

Mbaziira yagendayo  namusanga nowa booda booda naye namuggyayo nebafuna Takisi okudda ewaka mu kiro ekyo.

Ku makya Fidali yazuukukira mu miranga nga agamba nti bba yali afunye obuzibu naye yali takyasobola kussa.

Ab’omuliraano bagenda okutuuka okulaba ekiriwo, basanga Mbaziira ali mu kitaba ky’omusaayi nga ayambaddeko kitundu.

Bano bayita poliisi eyajja nekakasa nti Mbaziira yali afudde era omulambo gwe negutwalibwa mu ggwanika e Mulago okwekebejjebwa.

Ekiwandiiko kino ekisindiika Fidali mu kkooti enkulu  kiraga nti mu maka gabano basangayo essaati  eyali ebunye omusaayi, empale y’omunda nga ya mukyala n’essimu 2 ng’ebizibiti.

Omulambo gwa Mbaziira  gwaliko ebiwundu mu kifuba awamu neku mugongo.

Ebyava mu kwekebejja omulambo byalaga nti Mbaziira yafa oluvannyuma lw’okuvaamu omusaayi omungi nga guva ku kiwundu ekyamanyi kyeyali afunye ku mutima.

Poliisi yatwala Fidali nakeberebwa omutwe era nekizuulibwa nti yali ategeera bulungi bweyali tanatwalibwa mu kkooti okuvunaanibwa emisango gino ejja Nnagomola.

Bw’abadde mu kkooti nga ali mu kiteteeyi ekya kiragala ekya mateneti, Fidali  bw’abuuziddwa oba ebimusomeddwa abitegeera bulungi akkiriza.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist