Kabul
Omukulembeze wa Aghanistan, Hibatullah Akhundzada alagidde aba Taliban bagobe batabani babwe n’enganda be bateeka mu bifo bya gavumenti mu bwangu ddala era nabalabula okwewala ebikolwa nga bino mu maaso kuba bigenda kubaaleetera obuzibu.
Ekiragiro kino yakiwadde abo bonna abakulira eby’emirimu mu bitongole bya gavumenti ebyenjawulo nga agamba nti ab’enganda zabwe bebateeka mu bifo bino tebalina kyebamanyi ku bukulembeze nga tebalina nabukugu.
Kinajjukirwa nti bano bwebawamba obuyinza mu 2021 baliko abakozi ba gavumenti bebagoba ate abalala badduka mu ggwanga eryo nga batya ebiyinza okuddirira.
Oluvannyuma lwa kino abamu ku baali bakutte obuyinza baasalawo ebifo okubiteekamu ab’enganda abako n’abemikwano ekintu ekyazing’amya emirimu mu ggwanga eryo.
Ebyenfuna byayongera okugwa songa n’eddembe ly’obuntu lyayongera okulinyirirwa ekyaleetera amawanga amagabi g’obuyambi okubuyimiriza.
Bino byonna byagatta ku mbeera y’olutalo eyali emaze emyaka egisoba mu 20 mu ggwanga eryo eyaleka nga abantu abawerako bafudde ate nga abalala badduse ekibabu.
Ebitongole ebirwanirizi by’eddembe byasalawo okuteeka envumbo ku bamu ku banene ba gavumenti, n’okubowa ebimu ku by’obugagga bya bbanka enkulu n’okusalako obuyambi ebintu nebyongerera ddala okwonooneka.
Wadde Afghanistan erina eby’obugga eby’omu ttaka omuli ggaasi, Copper n’ebirala nga byonna bibalirirwamu akasse ka ddoola kalamba, byonna bikyalemedde mu ttaka olw’embeera ya ddukadduka eri mu ggwanga eryo.
Amawanga n’ebitongole bya bazungu bivuddeyo nebikolokota gavumenti yaba Taliban olwokuyisa obubi abakyala nga balinyirira eddembe lyabwe ekyongedde okuzing’amya ebyenfuna by’eggwanga lino.
Ekibadde kikyasembyeyo kwekugaana abakazi n’abawala mu Afghanistan okusoma mu matendekero agawaggulu wamu ne Sekendule.
Bya BBC