• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Abaami ba Kabaka basabiddwa okunyweza ensonga Ssemasonga era batuukirize obuvunaanyizibwa bwabwe

Gambuuze by Gambuuze
March 17, 2023
in Agafa e Mengo
0 0
0
Abaami ba Kabaka basabiddwa okunyweza ensonga Ssemasonga era batuukirize obuvunaanyizibwa bwabwe
0
SHARES
37
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Nassolo Maria

Kampala Mukadde – Kyaddondo

Abaami n’abatongole ba ssabasajja bakubiriziddwa okunyweza ensonga ssemasonga ettano,n’okutuukiriza obuvunanyizibwa bwabwe ng’abakulembeze.

Obubaka buno buweereddwa munnamateeka Lumunye Ronald Kasozi nga yakiikiridde Kaggo mu musomo gw’ okubangula Abaami n’ Abatongole ku buvunaanyizibwa bwebalina eri abantu ba Kabaka.

“Mbeebaza okujjumbira omusomo guno,okuwaayo Oluwalo embuga omwaka oguwedde,wamu n’okugaba omusaayi mubungi ddala,mwatuweesa ekitiibwa,” Munnamateeka  Lumunye bwe yategeezezza olunaku lw’ eggulo.

Lumunye era yasabye abakulembeze bano okuddayo basomese banaabwe byebayize era balwanyise omuze gw’okutambuza amawulire amakyamu ku Bwakabaka.

“Bannamwe abatazze wano mubasomese byemuyize,era mulwanyise omuze gw’okutambuza amawulire amakyamu ku bwakabaka kubanga kino kizza Buganda e mabega”.

Ye akulira Abavubuka be Kyaddondo mu Bwakabaka, asabye Abaami  n’ Abatongole ba Kabaka mu masaza amalala okujjumbira emisomo nga gino kuba gyakubayigiriza bingi ku ntambuza y’emirimu n’enkulaakulana.

Ye omwami w’embuga y’eggombolola masekkati era eyakuliddemu okuteekateeka omusomo guno, Kawuma Lule Henry abasuubizza okubakwasizaako nga batambuza emirimu gy’Obwakabaka n’okwongera okubaleetera abaseesa babasomese ebintu eby’enjawulo ebikwata ku buweereza.

Akulira abaseesa mu ssaza Kyaddondo, Ssaalongo Kalema asabye abakulembeze okufaayo okuyiga emirimu bwegitambula kuba lino lyerimu ku makubo agagenda okuzza Buganda ku ntikko.

Enteekateeka eno yakutambuzibwa mu masaza gonna e 18 era Abaami abeetabye mu musomo guno basuubizza okussa mu nkola ebibasomeseddwa wamu nokusomesa banaabwe abatasobodde kukiika.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist